Ebimmera bilina ebiriisa byanjawulo bye byetaaga era kikosa engeri j‘otabulamu ebirungo ebyetagisa mu ttaka. Okukyusakyusa ebimmera obulungi kisobola okwongeza ku bugimu bw‘ettaka ekisobola okwongera ku makungula.
Emigannyulo
Kiziyiza ebitonde ebyonoona ebimmera n‘obulwadde mu nnimiro kubanga birumbagana ebimmera birondemu.
Ebimmera ebiyitibwa Leguminous binno by‘ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka olwo ettaka nerisobola okudda obujja kinno kiviirako okwenkannyankannya kw‘ebiriisa muttaka.
Enteekateeka y‘okukyusakyusa ebirime
Tegeera ekikka ky‘ettaka eriri mu nnimiro ng‘oyita mu kuligezesa oba okuvva ku byaffaayo by‘ekimera ekyalikisimbiddwa wo okusobola okuzuula ekimmere ekigwanidde okusimbibwa.
Dda ku byafaaayo by‘ekirime ekyo era otabinkirize ebirime woba obadde osimba ekikka kimu.
Londa okuteekateka okw‘ekiseera ekiwaanvuko woba olima kinno kisobola okuyamba ennimiro obutataaganyizibwa.
Togoberezegannya bimmera byetaaga biriisa biingii n‘olwekyo goberezegannya ebyo ebyetaaga ebiriisa ebitono n‘ebyo ebyetaaga ebiriisa ebiingi.
Siimba enva endiirwa eziriibwa emirandira nga tonakyusakyusa birime eby‘empeke okuzaawo ebyo ebigata ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
Tosiimba mmere y‘ampeke mu nnimiro y‘emu ,lima ebimmera ebireeta ekirungo kya nitrogen oba eby‘enva endiirwa mu makati g‘ennimiro okusobola obutakooya ttaka.
Woba ng‘olina ettaka eriwera ,kyusakyusa ennimiro ezirimu emmere y‘empeke nezo ezirimu emmere ereeta ekirungo kya nitrogen mu ttaka okusobola okukuuma ettaka nga gimu n‘okuziyiza obulwadde.
Weriba ettaka nga ttonno bitabiketabike osobole okwewala omuddo ,okulumbibwa kw‘ebitonde ebyonoona ebirime n‘okwongera ku bugimu bw‘ettaka.