Amatooke mmere nansi eri abanji era y‘emu ku mmere egoba enjala naye ekosebwa nnyo kiwotokwa.
Kirwadde kyononyi nnyo nga kisobola okusaanyawo olusuku lw‘amatooke lwona mu kaseera katono bwekiba tekilwanyisibwa. Ekirwadde kino kitambuzibwa mu ngeri biri okusinga kwegamba; okuyita mu bikozesebwa okutema nga ejjambiya ne nkumi era nga wekisinga okukwatira mu bifo abalimi nga bebalabirira ensuku zabwe. Engeri eyokubiri kwekuyita mu bisolo n‘ebiwuka okugeza ente, endiga, enjuki n‘ebivu. Kino kiri nnyo mu bintu abalimi nga tebakozesa nnyo bintu bitema.
Obubonero n‘ebirabirwako
Ebitooke ebirwadde biyinza okutwala enaku 14 ku 90 okutandika okulaga obubonero bw‘obulwadde. This period is called latent infection and is the most dangerous period and source of inoculum. Ekiseera kino kiyitibwa kya bwekusifu/kwekweka kwa bulwadde era nga kyekisinga obubi ennyo era nga webusinga okutambulira. Abalimi babutambuuza nnyo mu kiseera kino nga tebamanyi.
Obulwadde businga kweyorekera mu ndagala kukala, okuwotoka ‚amatooke okwenera nga gakyali wamu n‘omugogo okuvunda.
Okulwanyisa obulwadde
Engeri esobola okulwanyisa obulwadde buno kukuuma buyonjo mu nsuku zonna, okusalako empumumpu ku bitooke byona nga okozesa akambe ak;amanyo akasibe ku luti, okutta obuwuka nga onyika ebikola mu nimiro mu ddagala wamu nokusimba ensukusa enyonjo nga zimanyikidwa weziva.
Abalimi bwebafuna okwekengera nti kiwotokwa wali, balina okusoka okulekerawo okukola ekintu kyona mu nimiro nga mulimu okusalira, okulima nokusala endagala okumal emyezi 3. Oluvanyuma lw‘emyezi 3, awo abalimi baba basobola okumanya ebitooke ebirwadde era bikosebwa kyenkanaki.