Ekirime kya teff kirime kya nsigo eky’omugaso, okusimbuliza ekirime kya teff kiyamba abalimi okukendeeza kunsasaanya n’okwongera amakunkula.
Okusimbuliza kyongera ensigo era nekyongera amakungula mungeri nti osobola okufissa kilo 29 ez’ensigo kubuli yiika kumi nanya. Osobola kwetaaga kitundu kya kilo eyensigo z’ekirime kya teff buli yiika kumi nanya. Kuliza endokwa mu merezo eziteekateekeddwa era ezirimu ettaka egimu okuliraana ennimiro omw’okusimbuliza ennaku 20-30 nga obudde bw’okusimba tebunatuuka.
Okusimbuliza
Kola enyiriri zamabanga ga 10cm ku ttaka eriddugavu mu merezo ezigulumide era oyongeze omuguwa ku miti egiwanirira okusobola okufuna ebanga ery’etagisibwa okuva ku ttaka.
Teeka ensigo mu nyiriri, bikka nettaka etono lya 2-3cm, buli kiseera fukirira era okoole.
Nga tonaba kusimbuliza, longoosa, kabala era oseteeze ennimiro.
Olunaku lumu okutuusa lw’osimbuliza fukirira amazzi agamala era simbuliza lwokka nga ettaka liweweevu, nga libisi nnyo oba nga libunye amazzi.
Kola enyiriri kumabanga ga 20cm mu nnimiro enkulu, saamu ebigimusa bya DAP era obikeko ettaka tono,
Teekamu ensigo 3 mubuli kinnya mubanga lya 10cm era kozesa kitundutundu ku bigimusa bya Urea ebikubirizibwa endokwa nga zimeze.
Oluvanyuma lwennaku 30 kozesa ebigimusa bya urea wakati mu nyiriri.