Obuli bw‘omukibuga buyamba abalimi mu bibuga nebuvaamu n‘enyingiza. Ebibuga birina amazzi mangi nekasasiro naye tebirina bifo wakulimira.
Ente zamata zikuumirwa mubibuga n‘ebaziretera omwo omuddo okulya. Enkola eno ekola nnyo mu kifo ekifunda. Kasasiro asobola okuddamu okozesebwa ng‘emere y‘ente. Ebibala ebiteetaagibwa, enva endiirwa n‘ebiwata birina okumala okulondebwa nga tebinakozesebwa nga mmere ya bisolo.
Enzimba ya Bio-gas
Obusa okuva munte busobola okukyusibwa nebukolebwamu biogas ekiyamba okukekkereza amasanyalaze, amafuta n‘ekikuuma n‘obutonde. Obusa bwente bukunganyizibwa n‘ebussibwamu bbokisi etabulirwamu eya biogas nossamu amazzi n‘otabula bulungi nga bwojjamu obukutubba n‘omuddo. Olutabu lutwalibwa webutabulirwamu gaasi ayitibwa methane nafulumizibwa olwo neyeyambisibwa mu kiyungu. Ekintabuli ekya methane nempewo efulumizibwa abantu n‘ebisolo (carbondioxide). Asobola okweyambisibwa mu kufumba n‘okufuna ekitangaala. Ebivudde mu biogas bisobola okukozesebwa ngebigimusa ebyobutonde eri enva endiirwa n‘ebibala ebirala ebiri ku faamu.
Enkola za biogas ezitali za buseere zisobola okukolebwa mungeri eyabulijjo era kweziri ku katale. Enkola eno ey‘okuddamu okukozesa ebintu ebitakyetaagibwa mu butonde, kubukuuma okusigala nga buyonjo.