Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kisobola okuleetawo enjawulo wakati w‘ekyeya n‘okukungula. Abalimi bagunjizzaawo enkola ez‘enjawulo okukwatagana n‘embeera y‘obudde, nga bakozesa enkola ennansi n‘okukozesa ne ku nkola empya.
Enkola z‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo zisobola okugabanyizibwamu mu ezo ezikozesa amazzi okuyita mu mukutu, ezo ezikungaanya amazzi amatono, ezo ezireka amazi okukulukutira mu nnimiro n‘ezo ezikunngaanyiza amazzi mu bidiba. Enkulukuta y‘amazzi esinziira ku bugulumu n‘obusirikko era amazzi ne gasaasaana mu nnimiro ne mu ttaka ekkalu n‘emiti gy‘ebibala.
Emiganyulo
Mu bifo ebibeeramu enkuba ey‘amaanyi, enkola y‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo esobola okukozesebwa ng‘amazzi gakungaanyizibwa mu kidiba mu nnimiro esobola okukozesebwa ku bibala n‘enva endiirwa.
Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kikuuma obutonde nga kiziyiza mukoka w‘ettaka , ettaka ly‘okungulu litwalibwa mu mugga ne kireka ennimiro n‘amakungula amatono. Kiyamba n‘okugatta amzzi mu ttaka.
Kiyamba okwongera ku makungula era n‘ebirime bikula bulungi ne kisobozesa n‘okusimba ebirime eby‘enjawulo.