Enkozesa ey‘obuwangaazi ey‘ettaka ekuwa amakungula wamu n‘okukuuma obutonde nga tebutaataaganyiziddwa, amazzi amayonjo n‘embeera y‘obutonde.
Enkozesa ey‘obuwangaazi ey‘ettaka ekuuma ekirungo kya carbon ate nga ewa omwagaanya okukuuma obutonde. 1/3 ku mikka egitaataaganya obutonde egireeta enkyukakyuka mu butonnde giva mu bya bulimi n‘obulunzi n‘enkukakyuka mu nkozesa y‘ettaka. Enkyukakyuka mu butonde era nga kyetaaga okukomezebwa, abalimi basikirizibwa okubeera abayiiya nga bakozesa tekinologiya, abavujjirizi boongera ku bugabirizi ne kyongera ku nkozesa y‘ettaka ey‘obuwangaazi.
Endabirira y‘ettaka
Okupanga kw‘amayinja y‘enkola y‘okukungaanya amazzi ekolebwa ng‘amayinja gateekebwa ku nsalosalo. Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya ziyamba mu kukuuma ettaka. Ekika ky‘omuti gwa grevillea , muti ogwettanirwa abalimi bangi.
Okukungaanya amazzi ku mabbali g‘oluguudo: Amazzi agakulukuta okuva mu nguudo gasobola okukungaanyizibwa ne gakozesebwa okukuza obulungi ebimera.
Okulundira ensolo mu biyumba n‘omukka oguva mu bintu ebivunda kwe kuba nti ente z‘amata zikuumibwa mu biyumba era n‘obusa bwazo nebukozesebwa okukola omukka oguva mu bintu ebivunda.
Ebinnya ebiteekebwamu obusa bifuna amazzi agakulukuta era bikola nnyo nga biteekeddwamu obusa era ne biteekebwa wakati w‘emiziziko gy‘amayinja. Enkola ya demi lunes nyangu okuteekebwawo era zikozesebwa ku birime, emiti n‘omuddo gw‘ensolo.
Enkola ey‘okulimira ebirime ebikulira mu mwaka gumu wamu n‘emiti ekola emiti egisakaatidde okwewala empewo ku ttaka. Enkola y‘okugimusa okuyita mu kukozesa ebinnya by‘ebigimusa n‘okuteekako ekigimusa ekitonotono.
Enkola y‘abalimi ey‘okuleetera emiti okwemerusa gyokka okuva mu nsigo oba ku bikonge (FMNR). Abalimi n‘abalunzi abatambula n‘ensolo zaabwe okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala bakubaganya ebirowoozo okufuna emiganyulo egy‘awamu, emmere y‘ebisolo n‘ebigimusa ebirime. Ennima y‘obutonde ekozesebwa nnyo abalimi abalima ekitono.