Coir kyekikuta kye Nazi. Bwekika kikubibwa, tufuna olufuufu oluyitibwa coir pith, luno lusobola okuvundizibwa nerukozesebwa okulongoosa ettaka.
Ekikuta kye Nazi okusinga kya mugaso mu bifo ebibeeramu ekyeeya enyo ettaka bweriba lya musenyu kubanga lyongera ku ngeri ettaka gyerikwatamu amazzi. Mu nkola eya bulijjo, olufuufu lwe nazi okulufuna osooka kunyika a nazi mu mazzi okumala wiiki eziwera era bweba enyikidde bulungi, ekikuta kigibwako ne kikubibwa nekifuuka obuwunga nga okozesa omuggo. Abalimi abamu bavugirako Tulakita nebirinya ate abala bakozesa byuma (machines). Olwo obuwuziwuzi nebukozesebwa okukola emiguwa, emikeeka n‘ebintu ebirala ate olufuufu nerufuribwa ekigimusa kya nakavundira.
Engeri yokuluvunzaamu
Olufuufu lusengejjebwa era awantu awali ekiseikirize wafunibwa okulufundizawo omuti gwegusinga okwagalibwa. Kola entumu ya nakavundira mu mitendera; omuugo ogusooka ogubeera gwenkana kilo 20 ez‘olufuufu ogusasanye era ogatemu ekivundisa nga kirimu obuwuka bw‘omittaka.
Ekivunza eky‘obutonde kisobola okukolebwa nga otabula liita 100 eza mazzi ne kilo 5 ez‘obussa bwe nte, eminwe 10 egy‘amatooke , liita 3 ez‘omusulo, ne kitundu kya kilo ya kaloddo, ekitundu kya kilo y‘bikuta by‘ebimera ebigatta nitrogen mu ttaka n‘olubatu lw‘ettaka. Bino bitabulenga emirundi ebbiri buli lunaku era obibike ekikutiya era oluvanyuma lwawiiki emu, bino bijja kuba nga bituuse okukozesebwa.
Fuyirako liita 10 ez‘ekirungo ekivunza ku muteeko ogw‘olufuufu olwo oyongereko kilo 4 eze‘ekirungo ekirimu Nitrogen okugeza kalimbwe we nkoko.
Yongerako omuteeko gw‘olufuufu era odemu byokoze waggulu. 100g ez‘ensigo y‘obutiko oba 100g eza trichodema bisobola okukozesebwa nga ebivunza. Fuyirako amazzi ku ntuumu ku ngulu buli lunaku okugikuuma nga mbissi. Nakavundira mubikuleko buli naku 10 okusobozesa empewo enungi okuyingira era nakavundira abeera atuuse mu banga ly‘omwezi.
Enkozesa ya nakavundira
Tekamu kilo 100 ez‘olufuufu oluvunze ku mutendera ogusembayo nga otekateka enimiro. Mu beedi, tabula ekitundi 1 nakavundira mu buli bitundu 4 eby‘ettaka nga tonaba kuliteeka mu buveera oba ku lubaawo olumererako ensigo.
Bwegiba miti kya bibala egiweeza emyaka 10, tekamu kilo 10 ku buli kilo mu buli myezi 6 wabula bwegiba miti gya bibala nga gisuuka emyaka 10tekamu kilo 15 ku buli kikolo buli myezi 6.