Ebinyeebwa bisinga kulimibwa mu bugwanjuba bwa Kenya era biyisibwa mumitendera egyenjawulo okuva mu kukungula okutuusa lwebiba nga bibw‘atuukirira.
Okwongera omutindo ku binyeebwa kikolebwa nga bikolebwaamu ekipooli ekikozesebwa mukusiiga. Okutegeera sizoni kyamugaso kubanga ebinyeebwa birimwa mu sizoni. Ebinyeebwa bitera kulira mubanga lya nnaku 130-150 okusinziira singa biba nga biranda oba nga tebiranda. Ebiranda bimanyiddwa nnyo kulwoobutabi bwaabyo obuwanvu wamu n‘ebinyeebwa ebiriko ate nga ebitalanda byo ebinyeebwa bimera kubulandira bwaabyo ebitono.
Okwongera omutindo ku binyeebwa
Omutendera ogusooka mu kwongera omutindo kwekuwewa wamu n‘okusiika ebinyeebwa ekikolebwa okuyita mu munkola oguyitiwa okusiika. Enkola eno erimu ebinyeebwa okusiikibwa muntamu ey‘etoloola ebugumizibwa ku bbuguma lya 426.6°C. Ebinyeebwa bisiikibwa okutuusa ku bbugumu lya 100°C okumala eddakiika 40- 60 okukakasa nti byonna biyidde.
Oluvanyuma lw‘okusiika, ebinyeebwa biwozebwa okutuusa kubbugumu ely‘ekigero lya 25°C oluvanyuma bisobola okususibwa oba okusiikibwa nga bwebiri.
Okusekula ebinyeebwa
Ebinyeebwa bisekulwa okusobola okufuna ekipooli oluvanyuma lw‘okususibwa. Ekyuuma kiteekebwaamu ebinyeebwa bitonotono era nga kino kitwaala obudde bungi naddala nga ot‘ekateeka ekipooli kyingi.
Ekisembayo, oluvanyuma lw‘okusekula nga kuwedde ekipooli kirekebwa okuwola okumala esaawa 36 nga tekinaba kuterekebwa mumikebe emiyonjo naye ate mumakolero amanene ekipooli kitekebwa mukyuuma ekiwoza era nekitekebwa mumikebe.