Ebikuta by‘amuwogo biva mu kuwaata muwogoera bisobola okw‘ongerwaako omutindo okufuna emere y‘ebisolo ebizza obw‘enkulumu n‘ebyo ebitaza bw‘enkulumu.
Ebikuta by‘amuwogo ebikozesebwa mukwongerako omutindo ayina okuba nga taliimu bikyaafu okugeza nga enkolokolo, ebiti, ettaka n‘ebintu ebirala biyina okujibwaamu. Bulijo kozesa ebikuta by‘amuwogo ey‘akawatibwa kubanga ebikuta ebiterekedwa bivunda era nebigonda kibiretera okubeera ebizibu by‘okumenyaamenya. Oluvanyuma ly‘okusunsula ebikuta, ebikuta bimenyebwamenyebwa okusobola okukendeeza size yabyo. Bimenyeemenye emirundi esatu okufuna ekigero eky‘etagisa olw‘okuba nga ebikuta bizibu kumenyebwamenyebwa okusinga ku muwogo.
Okusiba n‘okukkatira
Pakira ebikuta ebimenyedwamenyedwa mubukutiya mubunji bwa kilo 8 ku 10 awo zifunyize mumakati obipakire buli kimu kukirala ebiteeke mukyuuma kubuwanvu obumala obuyamba mukukozesa kwa jeeke. Teekako embaawo okusobozesa okufuna okunyigibwa okw‘ekyenkanyi okuva ku jeeke okutuuka ku bikuta by‘amuwogo ebimenyedwamenyedwa. Okukatira kuletera okugwamu amazzi amangu agekipimo kya 50%. Obukutiya obunyigidwa busuzibwaawo okusobola okukaatuka ekiviramu ebisigalira byetuyita ( cassava cake). Bino bisobola okulisibwa ebisolo butereevu oba okuterekebwa ennaku 7 nga tebinaba kw‘ononeka.
Okukaza n‘okutereka
Okufuna ekimere ekikalu, ekimere ekiweweevu kikendezebwa n‘okumenyebwamenyebwa okwongera okumenyebwamenyebwa okukisobozesa okuyita mukakumuuta. Okukumuuta kwawula ekimere mukitundu tundu ekirimu ekirungo kya fibre ekitono ate nga kiwa amaanyi mangi okuva mukitundu tundu ekimenyedwa ekirimu ekirungo kya fibre ekingi omuli ekiwa amanyi amatono ekiviiramu ekimere ekinyigidwa enyo ekiweweevu.
Ekimere eky‘ongedwaako omutindo kikazibwa okumala esaawa 6 ku 8 nga okisaasanyize kukintu ekitera okozesebwa mukukaza. Oluvanyuma ly‘okukaza, ekimere kiyina okubeera nga kiri kirimu obungi bwamazzi obuli wakati wa 10 ku 12% era kisobola okuterekebwa okumala ebanga lya myeezi 4 ku 6.