Obutungulu bukula okuyita mumbeera ez‘enjawulo. Bulwala bwebuba mumbeera y‘obudde eye‘kibugumirize. Endwadde zisasaanyizibwa ettaka, ensigo oba ebisigalira ebirwadde.
Obubero bw‘obulwadde mu butungulu bwebubala obwetoloovu obwakitaka nenkuubo ezakyenvu n‘okwezinga kwebikoola. Okusimba ebirime ebiramu weeyambise ebika by‘ensigo ez‘omutindo nga weeyambisa okuwabulwa okuva mu bakugu. Gula ensigo ezijjanjabiddwa/ ezikebereddwa okuva mu batunzi abeesigika okwewala endokwa ez‘omutindo ogwa wansi.
Okugema endwadde
Ggatta nnakavundira ku bbeedi y‘ensigoo okukuuma obutungulu obulamu ate obugumira endwadde. Siga ensigo nga bwogoberera amabanga amatuufu kulwennimiro okuyitamu empewo.
Jjamu endokwa endwadde neezo ennafu bwoba osimbuliza okugema okusasaana kwe ndwadde. Ggulumiza bbeedi okwanguya kukulukuta kwa mazzi. Ffukirira amazzi agamala naye togaleka kwanjaala. Buli kadde ffukirira ebimera ku makya okusobola okubireka okukala.
Koola buli kadde omuddo mubirime okukiriza empewo okuyitamu.
Okwekkennenya ennimiro okwabulikadde kikulu nnyo kuba kikuyamba okuzuula ebirime ebirwadde. Kkuula ebimonde byobutungulu ebirwadde era obiziike okuziyiza ensasaana y‘obulwadde.
Teekako ekigimusa ekyebikoola kulwebirime ebiramu ate ebigumu. Weeyambise eddagala erigema endwadde.
Simba ebirime ebyenjawulo musizoni ez‘enjawulo. Okukutulamu obutonde wobulwadde (life cycle). Tosimba butungulu munnimiro ebaddemu obutungulu obulwadde okumala emyaka esatu. Jjamu ebisigalira byebirime ng‘omaze okungula okugema okuddamu okulwaza ebirime ebirala.