Okuzimba n’okuddabiriza emizinga gy’enjuki

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=6cWnTOWJe08&t=131s

Ebbanga: 

00:07:19

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgriFutures Australia
Okusomesebwa okumala okuva eri abalunzi b'enjuki abapya n'abaludde mu mulimu ogwo kujja kuyamba okufuna obukodyo obulungi ate obw'omugaso obunaayamba ennyo ebiseera by'omulimu guno eby'omu maaso.

Emizinga gy’enjuki gye gimu ku bintu ebyetaagisa mu kulunda enjuki era nga gyabika bingi, nga ekimu ku byo kye kiyitibwa Langstroth.

Amabanga agakakasiddwa mu mizinga gy’enjuki galina kuba nga gali wakati wa mm 8 ne 10 kino kliyamba abalunzi b’enjuki okuteeka obubaawo mu mizinga kisobozese okulabirira obulungi enjuki. Kikirizibwa okukozesa emizinga egisobola okuggyibwamu obubaawo. Emizinga oba ebbokisi gibeera n’obubaawo obuteekebwako obuli wakati wa 8 ne 12 naye obuwanvu buyinza okwawukana. Ebisanikira ebivaako  bikozesebwa ebiseera ebisinga kubanga bikiriza emizinga okugattibwa awamu ate embaawo za wansi ziba n’enkana n’ebbokisi okugyako omulyango oguyingira gweyongerako katono ebweru mita 25 zokka.
Ebintu ebirala ebikola omuzinga
Ebikola omuzinga ebirala mulimu ekiziyiza nnabakyala w’enjuki okugenda ewali omubisi, ebinyweza omuzinga gubeere wamu era bino oluusi biyinza okuba akagoye oba akasiba akaggumu.
Emizinga oluusi gikolebwa mu mbaawo oba ebintu bya pulasitiki . Ebikola emizinga bisobola okugulwa okuva mu kibiina kya balunzi b’enjuki naye kyamakulu nnyo okusigala ku ngeri emizinga gye gikolebwamu.
Singa oba ogula ebintu ebikozeseddwako, kakasa nti ebikozesebwa byonna birina ekipimo ekirambikiddwa.
Okutegeka ebikozesebwa mu kukola omuzinga
Okutegeka  ebikozesebwa mu kukola omuzinga, weetaaga ennyondo,sitapuli, emisumaali,screwdriver ne screw.

Nga omalirizza  okubitegeka , embaawo zirina okuba nga zikuumibwa nga okozesa ekirungo  ekizitangira okwonooneka. Obubaawo bwa wansi, ebisanikira, ebbokisi birina okusigibwa ku njuuyi zombi munda n’ebweru okusobola okuzikuuma.
Obubaawo obuteekebwako buyinza okuba obw’omuti oba obwa pulasitiki naye wabula singa buba bukoleddwa nga bwa pulasitiki, bulina okusiigibwa ne wax w’enjuki  afumbiddwako nga okozesa bulaasi oba akozesebwa mu kusiiga . 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:50Ebbanga erikirizibwa mu bulunzi bw' enjuki lirina okuba wakati wa mm 8 ne 10
00:5102:00Ebyetaagisa mu kuzimba omuzinga gw'enjuki ekika kya langstroth
02:0102:09Obunyweza omuzinga buyambako okusiba omuzinga awamu.
02:1002:24Emizinga gisobola okukolebwa mu mbaawo oba mu pulasitiki
02:2503:02Ebyetaagisa mu kukola emizinga bisobola okugulwa okuva mu bibiina kya balunda enjuki
03:0305:59Okutegeka ebikozesebwa mu kukola omuzinga
06:0006:54Nga omaliriza okubitegeka, embaawo zirina okunyikibwa mu kirungo ekirungo ekiziyiza okwonooneka.
06:5507:19Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *