Enjjuki zirina emigaso mingi eri abantu okugeza zivaamu omubisi era guno osobola okugwekolerako.
Ngatonagenda ku kungula mubisi,omulunzi w‘enjjuki alina okufuna eby‘okwekumisa omuli ekyambalo ky‘ayambala ng‘agenda okuwakula enjjuki,enkikoofiira ekiriko akatambala,ebisabika engalo,akaloba akatukula akaliko ekisaanikira,omumuli ,akambe n‘ekibbiriti. Okusobola okukungula omubisi gwo obulungi,kakkasa nti oyambadde engoye ez‘okwekumisa era kakkasa nti wesabise bulungi.
Okukungannya ebisenge by‘enjjuki.
Ttegeka emimuli egimala okakase nti gikumazaako omutendera gwonna. Mu kukungula,kuma omuka okwetoloola ekiyumba ky‘enjjuki era osembyeyo omulyangu.Enjjuki eziba ku mulyango zijja kudduka munda mu kiyumba.
Lindako akaseera akatono olumala bbikula waggula w‘omuzinga gw‘enjjuki. Ffuuwa omukka waggulu w‘obikudde enjjuki eziriwagulu w‘omuzinga ziyingire munda.
Zula oludda olutaliiko njjuki nga okozesa akambe oku koona ku mitti egiri waggulu ku muzinga.Ebisenge ebitaliimu njuki bivaamu amaloboozi agali waggulu ennyo.Sala ebisenge ebikulu obise mu kalobo ko era tandiika n‘ebyo ebitaliimu njjuki.
Longoosa emitti gy‘omuzinga ejjawaggulu era ogitegeke nga wegibadde.
Okusunsula omubisi
Ekisero ekikalu nga kiyonjjo n‘akalobo akakalu nga katukula binno by‘etagibwa mu kusunsula omubisi. Ebisenge by‘enjjuki bimmenyemu obutundutundu obuse mu kasengejja akatukula akasaanikiddwako akagoye akatukula ng‘okatadde ku kalobo akatukula aka plasitikaa.
Bika ko ekisaanikira ku ka kalobo era okakkaase nti tekayingiza mpewo.