Emmwannyi kika ky‘abirime ebiwangala okusuka emyaka ebiri era oluvannyuma lw‘ebbanga amakungula gakyo gakendera ekiretawo obwettaavu bw‘okuzitema.
Okuttema emmwaannyi,akambe akasalira nga si jjambiya kekakozesebwa era nga kino kikolebwa nga emmwannyi ziri wakati w‘emyaka 7 ku 9 nga amakungula gaazo gaakendedde.Emmwannyi zittemebwa mu biseera eby‘enkuba wabula si mu kyeya kubanga wokikola zisobola okala.
Emitendera egikolebwa.
Woba ottema emwannyi,kirungi nnyo olekewo endduli ennamu obulungi era oteme omu mmwannyi omukkulu.
Woba ottema,ppima fuuti emu okuvva ku ttaka otteme omummwannyi mu bukiika (45 degrees.)kinno kiyamba amazzi okuyiringita wabula wotakikola amazzi gasigala waggulu nekiviirako omumwannyi gwonna okuffa.
Okuttema kunno kuyamba emmwannyi okubala obulungi empeke okusingira ddala emabega.
Omwaka ggumu nga guyiseewo,endokwa etandika okubala empeke z‘emmwannyi n‘olwekyo wottema emmwannyi ofiirwa amakungula ga sizoni emu.