Okutereka ensigo z’omuceere

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=WZnjqV3NyWQ&t=90s

Ebbanga: 

00:07:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2013

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AGRIMAT USA
»Ebintu ebingi eby'enjawulo ebikwata ku ntereka y'ensigo n'okuvvuunuka ebyo ebiyinza okwonoona ensigo nga ziterekeddwa.«

Ensigo z’ebimera kintu ekirina obulamu era omutindo gwazo gusereba mu kiseera nga ziterekeddwa. Walina okubeerawo ebikolebwa mu kaseera k’okuzitereka okukendeeza ku kusereba kw’omutindo.

Omutindo gw’omuceere mu kaseera k’okugutereka okusingira ddala gusinziira ku mazzi agagulimu. Omuceere bwe guba tegukaze bulungi nga tegunnaterekebwa, gugonda, gufuna ebbugumu era gubeeramu amazzi wabula kino kijja kukosa obwangu bw’endwadde n’ebiwuka okulumba omuceere era ekinaavaamu kwe kusereba kw’omutindo gwomuceere. Okukozesa ensigo eziwerako ez’omutindo kiyamba okukendeeza obungi bw’ensigo ezeetaagibwa era zijja kuvaamu amakungula agawerako mu ssizoni (omwaka) eddako.

Omuceere ogw’omutindo

Okufuna omuceere omulungi, londamu obulimba obungi mu nnimiro era mu kukungula buteeke wabbali. Wewa era ogwanike ku mmeeza, olwo oguteeke mu kipipa oba ekirala kyonna ekituuziddwa ku mmeeza. ebipipa oba ebintu mw’oteeka omuceere byoze bitukule era bikale bulungi nga tonnabikozesa. Ebintu by’oyinza okukozesa okutereka omuceere mulimu; ebisuwa ebya pulaasitiika, emikebe, wamu n’ebipipa. Bwe biba bisuwa by’ebikozeseddwa, bisiigibwa vanishi munda ne kungulu, oyinza okukozesa eddagala eriyitibwa tar oba butto afumbyeko okuziyiza empewo okuyingira mu muceere nga eyita mu kintu mw’ogutadde. 

Engeri y’okugupakiramu n’entereka 

Oluvannyuma lw’okukala obulungi, omuceere guteeke mu kintu mw’oyagala okugutereka gujjulire ddala. Bw’oba tolina muceere mungi gumala kujjuza kintu ekyo, omuceere ogunnyikiddwako oba omusenyu omukalu guyinza okukozesebwa okujjuza amabanga agalekeddwawo agayinza okubeeramu empewo. Era osobola okuteeka omusubbaawa ogwaka mu kintu ky’otaddemu omuceere egobemu omukka gwonna oguba gukyali mu kintu ekyo omuli omuceere ekitta n’ebitonde ebyonoona omuceere ebiyinza okubeera munda omwo. Ku ntobo ne waggulu mu kintu ekyo mw’otadde omuceere, oyinza okussaamu taaba omukalu oba ebikoola by’omuti oguyitibwa neem okugoba ebitonde ebyonoona ebirime.
Laba nga ekintu mw’otadde omuceere tekituuzibwa ku ttaka okukendeeza obukuku awamu n’ebitonde ebyonoona ebirime.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:05Ensigo y'ekirime kintu ekirina obulamu era omutindo gwayo gusereba mu kugitereka.
01:0601:34Omutindo gw'ensigo mu kuzitereka gusinziira ku bungi bw'amazzi agali mu nsigo ezo.
01:3501:40Okukozesa ennyo ensigo ez'omutindo kijja kukuwa amakungula amangiko ssizoni oba omwaka oguddako.
01:4102:15Ebigobererwa okufuna ensigo ennungi.
02:1602:57Ekintu mw'ogenda okutereka omuceere kyoze bulungi era kikalire ddala nga tonnakiterekamu muceere.
02:5803:34Bwe biba bisuwa by'ebikozeseddwa, bisiige eddagala ly'embaawo eriyitibwa vvanishi munda ne kungulu, oyinza okukozesa eddagala eriyitibwa tar, oba butto afumbyeko.
03:3504:04Bwe muba mukyalimu amabanga mu kintu mw'oterese omuceere, osobola okuteekamu omusubbaawa ogwaka era obikkeko , gusobole okuggyamu omukka gwonna ogw'obulamu ogulimu.
04:0504:47Nga omaze okugukaza obulungi, omuceere guteeke mu kintu mw'ogenda okugutereka kijjulire ddala.
04:4805:13Mw'oterese omuceere laba nga tebituula ku ttaka okukendeeza ku bukuku wamu n'ebitonde ebyonoona ebirime.
05:1407:07Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *