Bwosimbuliza omuceere ofuna amakungula mangi, nooba nomukisa okulwanyisa omudo. N‘olwekyo kiba kyangu okulabirira ekirime kyo. Bwomansa omuceere, omuddo kifuuka kizibu ogukoola. Bwosimbuliza, amakungulago galinya negekubisaamu emirundi ebiri oba esatu
Ekirala okozesa ensugo ntono kuba osobola okulondomu ezo zokka ennungi. Omuceere gubala nnyo bweguba n‘obulikwa bungi kuba buli kalimba kazaala ebirimba (panicles). Okumera kwobulimba kukosebwa obukulu bwendokwa n‘obuwanvu bwobulokwa mukukka wansi nabanga wakati w‘ebirime.
Engeri gyosimuliza
Funa ensigo ennungi era kakasa nti tokozesa nnyingi mu mmerusizo yo, kuba ennyingi zimera nga nnafu. Endokwa ziyina okuba n‘ebikoola bina era ziyina okusimbulizibwa luvanyuma lwannaku 15 ku 20 nga zisigiddwa. Endokwazo bweziba zabikoola bisatu tozisimba wansi nnyo ngozisimbuliza. Endokwa enkuulu zibeera ntono era zeetaaga obudde butono okudda engulu zitandike okukula nate. Seteeza ennimiroyo ogonze (puddle) ettaka okusobozesa okusimbuliza okwanguwa. Leka akabubi koluzizzi ennaku ntono nga tonnasimbuliza. Teekateeka ennimiroyo okusimbuliza mu ngemerusizo ya wiiki bbiri. Nga tonnaba kusimbuliza sooka ofukirire emmerusizo okwewala okwonoona endokwa. Simbuliza n‘obwangu nga endokwa tezinakala.
Ssa eitundu ebyeru ebyawansi ebyendokwa z‘omuceeremu ttosi oleke ebitundu byakiragala waggulu wettaka. Endokwa zijja kula mpola singa nekitundu ekya kiragala kitekebwa muttaka. Emirandira bwegiba wansi ennyo gifuna oxygen mutono negizaala obulokwa era endokwa zifa. Endokwa zomuceere zeetaaga amabanga okuzaala obulokwa. N‘olwekyo oyina okusimba endokwa emu ku ssatu buli kinnya. Ebirimba bwebitandika okuvaayo, obulokwa bulekerawo nekitundu kyekirime egyawagulu kikoma okukula. Nabwekityo omuceere gubala nnyo n‘omuddo guba mutono.
Simbuliza omuceere mubbanga ya ssentimita 20 okuva kukikolo okudda kukikolo. Abalimi abamu bakozesa akaguwa akaweza ssentimita 20 obuwanvu, osobola okweyambisa akati oba ebigimusa oluusi n‘engalo okukuyamba okupima. Omuddo guba mwangu okwanganga singa omuceere gubeera mu layini.. Endokwa bwezifa mubudde bwokusimbuliza osaana ozeemu mu‘ndokwa wiiki emu.