Okubeera ne kamulaali omulungi kitandikira ku ndokwa ez’amaanyi nga namu era nga zino zisobola okuzibwa mu beedi , mu nimiro etegebwa obulungi wamu nokukwatibwa obulungi nga tusimbuliza.
Okukuza endokwa za kamulaali enungi, ettaka mu beedi lirina okuba nga gimu, lifukirirwa bulungi ate nga ligonda. Kola beedi ya mita 1 obugazi, okumpi n’enimiro okwanguya okusimbuliza era simba ensingo ntono buli layini.
Amateeka g’okusimuliza
Tekateka enimiro nga bukyali nga ogyamu omuddo wamu nokubakuba. Olwo otekemu ekigimusa ek’obutonde kuba kamulaali akulira mu ttaka erigonvu nga gimu.
Simbuliza nga endokwa zigumye ekimala okuyimirira kulwazo, naye tozilwisa nnyo mu beedi. Amabanga gasinzira ku ngeri gyakulamu , 40cm ku 40cm eri ebika ebyegolode ate 40cm ku 80cm ku bika ebikola akasaka.
Kisingako bwosimbuliza akawungezi era ofukirire beedi nga tonasimbuliza okwanguyiza okusigula endokwa nga tozimenya.
Bwoba osimba, emirandira gikomoleko bwegiba miwanvu, okufuna endokwa ezegolode era teeka endokwa emu mu kinnya ku buwanvu bwa 5cm era simbuliza nobwegendereza.
Nga omaze okusimbuliza, okuwotokamu kyabulijjo, fukirira endokwa okuziyamba okukwata.