Ebimera ebigatta nitrogen mu‘ttaka biyamba abalimi mungeri nyingi. Birungi kuba bivaako amakungula amalungi atte era byamugaso okulwanyisa kayongo.Omuddo omunyuntunsi omumyufu oba ogwa kakobe oguyitibwa kayongo kyekimu kubika byo muddo. Kayongo yezinga kumirandira gyebirime ebyempeke ate era nebinyunyunta amazzi wamu ne‘biriisa.
Okumanya engeri gyokozesaamu ebimera ebigatta nitrogen muttaka entuffu olina okuyiga ebimu -ku‘bigoberelwa.
Abalimi abamu basimba kawo wakati mu bulo, omuwemba ne kasooli. Olwo ebikoola nebikunkumuka kuttaka awo omuddo neguremesebwa okumera.
Omugaso gwebirime ebigatta nitrogen muttaka
Kawo, ebinyeebwa ne soya byebimu ku byokulabirako byebirime bino. Ebirime bizaala eminyololo ebiwa emere omuddo gwebisolo nesente. Ebirimera bino bilina emirandira egisikiriza kayongo era era negimuletera okumera.
Ettaka eribikidwa obulungi n‘ebirime bino lisigala nga pewevu era liziyiza kayongo okumera. Ebirime ebisikiriza okugeza nga ttaaba, ppamba, ne‘ntungo nabyo birime ebigatta nitrogen muttaka.
Ebimu ku birime byempeke bikulira mu bisiikirize byebilara. Naye bwosimba ennyiriri ezewawade ezebirime ebigatta nitrogen muttaka n‘ebibirime ebilara, ekisikirize kiba kitono nolwekyo ebimera bikula bulungi.
Bwosimba ennyiriri ssatu eza soya, osobola okusinga ennyiriri bbiri ezomuwemba okuddako. Ebijanjalo bisobola okutta kayongo ekyiwa omuwemba obusobozi okukula.
Okufuna amakungula amalungi ag‘ebirime byempeke, olina okubisimba nga biriranaganye era obiwe nakavundira nebigimusa ebigule. Oyanguyirwa nnyo okuwa ebigimusa ebigule eri ebirime ebisimbidwa mu nnyiriri.
Kyangu okukoola ebimera ebigatta nitrogen muttaka n‘enkumbi oba ensolo ezirima nga ebirime biyimiridde busimba. ebirime ebiranda bibiikka ettaka nebiteteganya omuddo okukula. Ebirime erbikula ku‘ttaka elyateebwaamu nakavundira bikula era nebibika ettaka bulungi.