Ensigo z‘entungo zamugaso eli obulamu neli eby‘enfuna naye ku semazinga wa Afrika amakungula matono kubanga ensigo zimansibwa bumansibwa nga zisimbwa.Okusimba mu nnyiriri n‘okutira kisobola okuyamba ok‘ongeza amakungula.
Okumansa kuleta omugatiko gw‘ebimela nag kino kivilako enkula y‘ebirime okubeera embi ate nikiletela n‘okukola munimiro okubeela okuzibu okugeza nga okukoola.Wabula okusimba mu nnyiriri n‘okutira kiwa amabanga agemala eri ebirime okusobola okukula obulungi ekivilako amakungula okweyongela.Okubela ne nimiro ennungi, tandika n‘ensigo ey‘omutindo emeela obulungi.simba ensigo okusinzila ddi amakungula lwegasubirwa okutukawo naye simu sisoni y‘enkuba.Entungu zikulila mu mwezi 3 nga omazze okusimba.
Engeri y‘okusimbamu
Nga tonasimba, Okubela ne nimiro ennungi, tandika n‘ensigo ey‘omutindo emeela obulungi.simba ensigo okusinzila ddi amakungula lwegasubirwa okutukawo naye simu sisoni y‘enkuba.Entungu zikulila mu mwezi 3 nga omazze okusimba.engeri jekiri nti ensigo z‘entungo ntono ate nga zikula bulungi mu nimiro esetezeddwa.Tusobola okusimba ensigo z‘entungo to meruso ezigulumiziddwa nag zamabanga ga 80cm wakati mu nyiriri oba kuttaka etelevu obulngi kumabanga aga 60cm.Kino kiyamba entungo okukula obulungi ate nekiretela okukola n‘okukungula okubeela okwangu.Nga osimba lekawo amabanga ga 20cm wakati g‘ebinnya.
Okwewala okuteka ensigo ennyingi mu kinnya, tabula ekitundu kimu eky‘ensigo y‘entungo mu bitundu bibiiri eby‘omusennyu oba mu cacu. Naye bwoba weyambisa ekyuma ekisimba, kya nkizo nnyo okutabula cacu munsigo nga osimba.
Musiseela nga osimba, sima ebinnya ebimpimpi ate ela otekemu ensigo awo lyoke ozizike n‘ettaka etonotono.
Osobola okutira oba okuzamu ewatamela mu wiiki emu oba kikole lumu nga okoola omulundi ogusooka kubanga lya wiiki 3.
Nga ottira, leeka ebirime bibiri byokka eby‘amanyi mubuli kinya.Okusimba munyiriri n‘okuttira kyanguya mukiseera kyokoola, okungula n‘okusiba obiganda.