Kyamugaso kulwomutindo gwa kasooli okumutabika n‘enkolimbo.
Kasooli yetaaga ekirisa kingi okuva muttaka. Buli makungula, ekirisa kingi kigyibwa muttaka. Oluvannyuma lwe myaka emitono ennimiro zifirwa ekigimusa nekasooli nagwa omutindo kubanga ettaka liba teriwummula. Ekirime kya kasooli bwekitafuna birisa bimala ayengererera era nebikona.
Enkoolimbo
Enkoolimbo zirina obusobozi okuzza ebirisa muttaka. Ebimera bijja ekirungo kya nitrogen okuva mu mpewo, kisindikibwa mu mitendera era nekigatibwa muttaka. Emirandira, ebikoola n‘enduli nabyo biyamba okulikiriza ettaka. Enkolimba zisobola okusimatuka ekyeya kubanga emirandira zaazo zikira ddala wansi muttaka.
Oktabuka kasooli n‘enkolimbo
Waliwo obusobozi okutabula kasooli n‘enkolimbo mu buwanvu bwa centimitta 7 wakati osimbemu ebikolo bya kasooli.
Engeri endala kwekusimba ennyiriri bbiri noyisaamu olunyiriri lumu olwe‘nkoolimbo. Enkoolimbo elina okusimbibwa sentimita 75 okuva kukikolo ekimu okudda kukirala, okusobola okufuna ekitangaala kyenjuba ekimala. Ekirala entumba ziyina kuba za sentimita 30 mubusimba. Oyina okusimba empeke ze‘nkolimbo 3 buli kinnya ate mu buwanvu bwa centimita 5 okukka wansi muttaka. Omulimi asaana asimbe ensigo ya kasooli ennamu mu kinya centimita 25 okuva ku kinya ekimu okudda kukirala.
Engeri ey‘okusatu yeyokusimba ebirime byombi lunyiriri lumu. No‘lwekyo ennyirir liyina okuba sentimita 75 okuva kulumu okutuuka kululala. Teeka ensigo ya kasooli buli luvanyuma lwa sentimita 25. Buli luvannyuma lwe‘binya bisatu teekawo ekinnya oseemu enkoolimbo. kino kitegeeza ebbanga lisigala liri sentimita 75 okuva kukinya kyenkoolimbo ekimu okutuuka kukirala.