Nga ebibuga gyebyeyongedde, waliwo obwetaavu okuva ku kulima emiti okwedda okudda ku kusimba emiti mu bibuga.
Omutendera ogusooka mu kusaawo ekibira mu kibgaa kwezuula emiti ginansangwa mu kitundu era nogikuza nobwegendereza mu buveera obulimu ettaka egimu, obusa wamu n’ettaka ly’omukibira. Obuasaka n’omuddo ogulanda birana okusimbibwa mu miti.
Okusimba ekibira ky’omukibuga
Tekateka ettaka awokusimba. Kino okukola nga ogyamu amayinja, nebitafali mu kifo omusmbibwa. Obusa, ettaka ly’omukibira bitabulwa bulungi mu ttaka in bipimo bya kilo 10 buli bwetolovu bwa mita (sqm).
Emiti gikulizze mu buveera ku kifo awagenda okusimbibwa okumala wiiki 2. Kino kigiyamba okumanyira embeera zawo ez’obudde.
Mu buli mita ku mita simba emiti 4. Kino kigsobozesa okukula amangu nga bwekilwanira omusana. Emiti, obusaka wamu n’omudo ogulanda birina okusimbibwa wamu ngera mu kibira bwekiba. Gezaako okunyigiriza ebikolo 400 eby’ebika 100 mu kifo ekitono ekya mita 100 ku 100.
Okubikka kusobola okukolebwa okukuuma obunyogovu mu ttaka. Gatamu ebigimusa eby’obutonde okwanguya okukula.