Okumeza emirandira ku matabi g‘ekimera y‘enkola y‘okumeza emirandira ku ndu oba ettabi ly‘ekimera nga ettabi eryo likyekutte ku kimera, n‘osalako ettabi eryo nga emirandira gimaze okumera okusobola okulisimbuliza.
Okumeza emirandira ku ttabi ly‘omuti kireetera ekitundu ekya waggulu eky‘ekimera okumerako emirandira nga kikyekutte ku kimera kisobole okuggibwako kiddemu kisimbibwe. Okumeza emirandira ku kimera weetaaga akambe, ssoloteepu n‘ettaka. Nga tonnakozesa kambe, kaggyeeko obuwuka nga weeyambisa amazzi aga ssabbuuni.
Okusala endu
Mu buwanvu bwa kitundu kya yinci oba yinci emu ku ndu wansi w‘ettabi we likwatira ku ndu, sala ekikuta naye nga toyingira nnyo munda okwetooloola endu yonna.
Nga oleseewo obuwanvu bwa kitundu kya yinci oba yinci emu waggulu w‘awo we wasaze, sala omulundi ogwokubiri nga okweetooloola endu. N‘obwegendereza, ggyako ekikuta nga okisalamu busimba nga olaba nti tosala ndu yennyini.
Ettaka n‘okusabisa akaveera
Sala ekitundu ky‘akaveera akeegolodde obulungi nga kaliko obugazi bwa yinci kkumi na bbiri ku kkumi namunaana. Kanjuluze keegololole bulungi. Funa ettaka ebbisi olizingezinge libeere lyetooloovu. Ettaka eryo linyige mu makkati oliteeke ku ndu w‘osaze olabe nga w‘osaze wali mu makkati g‘ettaka eryo ly‘otaddeko. Ettaka lyetoolooze endu yonna.
Teekako akaveera nga okeetoolooza ettaka eryo okulaba nga ettaka lyonna libikkiddwa akaveera. Bwe wabaawo ettaka eriri waggulu oba wansi w‘akaveera, lizze ku linnaalyo mu kaveera munda era osibe akatuttwa wansi ne waggulu ku kaveera.
Okufukirira n‘okusimbuliza
Laba nga tewali ttaka liringiza. Zzaayo ekimera mu kifo we kibadde kikulira olirondoole buli wiiki. Teeka amazzi mu ttaka eryo buli lunaku okuliziyiza okukal. Kino kimala ebbanga wakati w‘omwezi ogumu n‘esatu.
Toggyaako mangu kimera ekyo nga omulandira ogusooka gwakajja, naye laba nga okifukirira n‘obwegendereza kubanga ku mulundi guno emirandira emipya gijja kusika amazzi okuva mu ttaka eryo. Nga emirandira girabiddwa nga gyetoolodde akaveera okukabuna, ekitundu ekimezeddwa kiba kituuse okwawulwa ku kinnaakyo. Ggya akaveera ku mirrandira, sala endu nga ogisalira wansinsi w‘emirandira we gyamera oluvannyuma okisimbe wonna w‘oyagala.