Enkofu binyonyi ebirundibwa nga bisibuka ku lukalu lwa Africa era ebiseera ebimu ziyinza okuyitibwa guineas, pintaids oba gleanies mu Luzungu. Zigumira embeera enzibu, zirina emibiri egy‘amaanyi era binyonyi ebitatera kulumbibwa ndwadde. Enkofu zirundibwa kuzirya na kuzifunako magi.
Okutandika obulunzi bw‘enkofu, kyetaagisa omuntu okusooka okumanya amateeka agali ku bulunzi okukakasa nti obulunzi bw‘ebinyonyi byomunsiko bukkirizibwa mu kitundu ekyo, wamu n‘okulonda ekifo ekirungi okulundiramu nga kirimu amazzi amayonjo, empewo ennungi eteriimu bikkakka. Okugula obukofu obuto kya nkizo nnyo mu kukola obulunzi obulunzi obw‘okufuna amagoba. Enkofu empanga ebeera n‘enkazi emu, noolwekyo okuzigula nga ziri bbiri ky‘ekirungi. Kirungi okukuumira enkofu mu kifo kimu okumala wiiki emu ku bbiri nga waakazigula zisobole okumanyiira ekifo ekyo ekipya.
Ebirungi ebiri ku nkofu
Okuzikuza n‘okuzirabirira kyangungu, zeetaaga ebiyumba bitonotono engeri gye ziri entonotono mu mibiri, era ne ssente z‘osaasaanyiza ku kuzikolera ebiyumba ziba ntono. Era, enkofu tezibonyaabonyebwa nnyo ndwadde, nnyangu za kuliisa, era n‘okuzirunda mu ngeri ey‘okukola amagoba kufunira ddala.
Enkofu zaagalwa nnyo kubanga ziyinza okutangira ebitonde ebisumbuwa ebinyonyi anti zirya ensekere n‘enkwa. Zirya ensowera, amayanzi wamu n‘amayenje. N‘ekisembayo, tezikkiriza kaamuje na mmese kulumba kitundu mwe ziri.
Endiisa n‘enzimba y‘ebiyumba
Enkofu zaagala nnyo okutaayaaya n‘okwenoonyeza eky‘okulya zokka na zokka. Enkofu zirya ebiwuka eby‘enjawulo ne nnabbubi, ensigo z‘engano, amakovu n‘ensiringanyi. Zeetaaga n‘okulya ku byakiragala okukuba obulungi emmere mu lubuto noolwekyo zirya omuddo, omuddo oguteetaagibwa mu nnimiro wamu n‘omuddo ekika kya dandelion.
Enkofu zeetaaga ebiyumba bitonotono. Amabanga ga ffuuti nga bbiri ku ssatu gajja kuba malungi ku buli nkofu, wansi awalungi awayiiriddwa obukuta bw‘embaawo omuddo omukalu oba essubi.
Enzaala yaazo n‘ebiriisa bye zeetaaga
Mu mbeera eya bulijjo, empanga emu eteekebwa wamu n‘enkazi emu naye empanga emu esobola okulinnyira enkazi ttaano ku mukaaga. Mu mbeera nga enkazi esuddewo ekisusunku nga amagi tegannayalula, amagi gatwale mu jjalulizo(incubator). Ebbanga ly‘okubikka amagi ago gasobole okwalula liri wakati w‘ennaku abiri mu mukaaga ku abiri mu munaana.
Enkofu zeetaaga ekirungo ekingiko ekya nitrogen. Emmere ezimba omubiri nga eri mu kipimo kya bitundu wakati w‘ebina n‘ebitundu abiri mu mukaaga ku buli kikumi nnungi nnyo eri obukofu obuto era ekendeezebwa okudda ku bitundu kkumi na munaana okutuuka ku bitundu abiri ku buli kikumi nga obukofu buwezezza wiiki ttaano okutuuka ku wiiki ey‘omunaana. Oluvannyuma lw‘okuweza wiiki munaana, obukofu obwo busobola okuweebwa emmere y‘ebinyonyi eby‘amagi eri ku bitundu kkumi na mukaaga ku buli kikumi.