Omutendera gw‘okukuza eby‘ennyanja gwetaaga obukodyo obw‘enjawulo era kinno kiremesa nnyo abalimi okutegeera obulungi obulunzi bwabyo.
Okusookera ddala ,okulunda ebyennyanja kulimu okubiteeka mu bidiba nga bizingiziddwa wekituuka ku kulya. Ebika by‘ebyennyanja ebirundibwa mulimu ,engege , emmale n‘ebika ebirala. Ebidiba bizimbibwako obutimba nga baabbwetooloza ne wansi wabuli kidiba. Ebyennyanja ebisajja bbisikiriza ebyennyanja ebikazzi okugenda webisula okusobola okubiika amaggi gekirina okuwakisa.
Okukuza eby‘ennyanja
Amaggi gagibwa mu bidiba nga beyambisa obutimba olwo negatwalibwa mu kyuma ekyaluza obwennyaja okugaalula . Amazzi gateekebwa mu kyuma eko okusobola okuteeka wo embeera eyefaananyiriza ey‘omugga eyenkizo ennyo mu kwaluza.
Obwennyanja obutto butwalira mu bidibwa omukulizibwa ebwennyanja nga wayiseewo wiiki ukaagaa ,eno bubeera yo okumala emyezi ebiri nga bukula. Emmere yabyo ekyusibwa okusinzira ku nkula y‘ebyennyanja okugeza birisibwa okusinzira ku buzitto bwabyo.
Mukwongerako, ebyennyaanja birisibwa emmirundii 3 olunnaku era n‘omutindo gw‘amazzi gupimibwa buli lunnaku emirundi 3 olunnaku okusobola okwewala okukosebwa mu kubirunda.
Ebyennyaanja bitwalibwa mu bidiba mwebikulira webigejja okutuuka nga bituuse okuvubwa .Ebyennyanja bivubibwa nga biwezeza emyezi 6 ku 8 ngaa biri mu buzitto bwa 300-350g.
Munkomerero, ebyennyanja bikeberwa era nebipimibwa buli luvannyuma lwa wiiki 2 era ebidibwa mwebikulira birambibwako olunaku eby‘ennyanja ebirimu lwebyayalulwa.