»Okulima kaamulali. Engeri y‘okusimba, okulima n‘okukungula kaamulali. 2/2«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=tdJe-kWvou8&list=RDCMUCOL8wsKTTsgkAiLGzcT-Gdg&index=26

Ebbanga: 

00:04:01

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2014

Ensibuko / Omuwandiisi: 

infoagrocom
»Kaamuli alimibwa mu mmerusizo mu mwezi ogwokubiri n‘ogwokusatu era n‘asimbulizibwa oluvannyuma lw‘emyezi ebiri mu ttaka eriyisa obulungi empewo nga lirimu ebigimusa eby‘obutonde. Endokwa zisimbibwa mu mabanga ga 40-50 cm mu lunyiriri wakati w‘ebirime ne 60-70 cm wakati w‘ennyiriri.«

Olw‘okuba ekirime eky‘omugaso nga kirimu ebiriisa, okulima kaamulali n‘obungu bwe bisinziira ku tekinologiya akozesebwa eyeesigamizibwako ku mutindo n‘obungi.

Kaamuli alimibwa mu mmerusizo mu mwezi ogwokubiri n‘ogwokusatu era n‘asimbulizibwa oluvannyuma lw‘emyezi ebiri mu ttaka eriyisa obulungi empewo nga lirimu ebigimusa eby‘obutonde. Ekirime kyetaaga ebbugumu erimala n‘ekitangaala wamu n‘ebitundu 50%-70% eby‘ebbugumu n‘obunnyogovu.

Okusimba ebirime

Endokwa zisimbibwa mu mabanga ga 40-50 cm mu lunyiriri wakati w‘ebirime ne 60-70 cm wakati w‘ennyiriri era ettaka lirina okuba lya kiwugankofu nga lirimu ebiriisa eby‘obutonde era nga lirina amazzi agamala. Wabula, ebbanga erisinga okuweebwa ebirime lya 1×0.5m naye lisobola okukendeezebwa ku birime bisatu buli square metre.

Okufaananako, okufukirira kulina okukolebwa nga kwa kigero buli kadde era mu kino, enfukirira ey‘amatondo y‘esinga olw‘okwekengera okuwumba. Okutema ebikata kwongera obugumu bw‘ekirime n‘okukula kw‘emirandira era okulandiza kukolebwa okuziyiza ekirime okugwa.

Endabirira y‘ebirime

Mu kusalira, omuwendo gw‘endu kukendeezebwa okutuuka ku 2-3 era ggyako ebikoola ebirwadde n‘ebikoola byonna oba emitunsi egirabikira mu kuyunga kw‘ebirime. Ku nkomerero y‘okuwasisa, amaaso gaggibwa ku kirime okubisobozesa okwengera era oggyemu ekibala kyonna ekirabikira mu kuyunga okusooka. Kino kikolebwa okukakasa nti ekika ky‘ebibala kya mutindo, mu ndabika era n‘ebibala mwe bibalira.

Okwongerako, kaamulali yeetaaga ekirungo kya nitrogen ku mutendera gw‘okumera ogusooka ate ekirungo kya phosphorous yeetaagisa ng‘ebimuli ebisooka birabise ne ku mutendera gw‘okwengera gwonna. Ekirungo kya potassium kyetaagisa okukuuma langi y‘ekibala n‘omutindo ate ekya magnesium kya mutendera gwa kwengera.

Obulwadde obusinga mu kaamulali bwe buwojjolo obweru n‘obuwuka obuyitibwa thrips era bwewalibwa ng‘okozesa eddagala lya axillary fauna. Ebirwadde ebisinga mulimu white rot, red rot, soft rot, kiwotokwa ne bacterial scabies.

Mu kusembayo, okukungula kusinziira ku bika ebisimbiddwa, okusiga, n‘embeera y‘obudde ebeera mu bbugumu erimala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:23Kaamuli alimibwa mu mmerusizo n‘asimbulizibwa mu ttaka eriyisa obulungi empewo nga lirimu ebigimusa eby‘obutonde
00:2400:36Endokwa zisimbibwa mu mabanga ga 40-50 cm mu lunyiriri wakati w‘ebirime ne 60-70 cm wakati w‘ennyiriri.
00:3700:43Ekirime kyetaaga ebbugmu erimala n‘ekitangaala mu bbugumu n‘obunnyogovu obumala.
00:4400:51Ettaka lirina okuba lya kiwugankofu nga lirimu ebiriisa eby‘obutonde era nga lirina amazzi agamala.
00:5201:03Ebbanga erisinga okuweebwa ebirime lya 1x0.5m naye lisobola okukendeezebwa ku birime bisatu buli square metre.
01:0401:13Okufukirira kulina okukolebwa nga kwa kigero buli kadde.
01:01401:33Okutema ebikata kwongera obugumu bw‘ekirime n‘okukula kw‘emirandira.
01:3402:06Okulandiza kukolebwa okuziyiza ekirime okugwa.
02:0702:11Mu kusalira, omuwendo gw‘endu kukendeezebwa okutuuka ku 2-3.
02:1202:33Ggyako ebikoola ebirwadde n‘ebikoola byonna oba emitunsi egirabikira mu kuyunga kw‘ebirime.
02:3402:51Ggyamu ekibala kyonna ekirabikira mu kuyunga okusooka.
02:5203:12Kaamulali yeetaaga ekirungo kya nitrogen ku mutendera gw‘okumera ogusooka.
03:1303:17Ekirungo kya phosphorous yeetaagisa ng‘ebimuli ebisooka birabise ne ku mutendera gw‘okwengera gwonna.
03:1803:26Ekirungo kya potassium kyetaagisa okukuuma langi y‘ekibala n‘omutindo ate ekya magnesium kya mutendera gwa kwengera.
03:2703:30Obulwadde obusinga mu kaamulali bwe buwojjolo obweru n‘obuwuka obuyitibwa thrips.
03:3103:39Kozesa eddagala lya axillary fauna okulwanyisa obulwadde.
03:4003:46Ebirwadde ebisinga mulimu white rot, red rot, soft rot, kiwotokwa ne bacterial scabies.
03:4703:55kukungula kusinziira ku bika ebisimbiddwa, okusiga, n‘embeera y‘obudde.
03:5604:01Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *