Okulima ekirime kya lupin kulimu okusoomozebwa kungi nga mwemuli of which are biotic such as pests and diseases and abiotic such as nutrient imbalances in soils. Abalimi basanga okusoomozebwa ekireeta amakungula amatono
Ekimera kya Lupins kisobola okulimibwa mu bitundu by‘ensozi kubanga bigumira eky‘eya. Birimu ekiriisa ekizimba omubiri, ekya fibre wamu n‘ekyo ekigumya amagumba n‘amanyo. Bino neera bigatta obugimu muttaka.
Ebimera eby‘obulamu
Tolimanga ekirime kya lupin okumala emyaka 2 munimiro yemu. Ekirwadde kya Anthracnose kyekisinga okubeera eky‘omutawaana ekirumba ekirime kya lupin okuva mu kumeruka neky‘eyongera okubeera obubi enkuba bwegobererwa omusana era kirabikira mu mabala amaddugavu ku bikoola, eminyololo ne nduli oluvanyuma ebikala, okw‘ewetta kw‘endduli wabula obuwuka okuleeta enddwade busigala mu nsigo nemubisigalira by‘ebimera.
Buli kiseera tereka ensigo okuva mubibala ebilamu. Obulwadde bussasaanyizibwa kuyita mu mpewo, enkuba wamu n‘abantu ku birime ebirara. Sunsula era osengeke ekirime kya lupin okufuna ensigo ez‘omutindo era jjamu ezimenyese, ezifufunyade wamu n‘ezo ezitafaananika mu lanji. Yawula ekigero nga w‘eyambisa screen oba emikono era okozese ensigo ennene kubanga by‘amaanyi okuguma n‘okuzaala ekingi. ziika ensigo enddwade okuziyiza okussasaana kw‘obulwadde.
Yumunguza ensigo okumala ennaku okusobola okujjamu ezikaawa