Bwewkolera byolandizaako ebibyo kikuyamba okulima ebijanjaalo ebiranda. Mubitundu byensozi, ebijanjaalo ebiranda birimwa emirundi essatu. Okulima ebijanjaalo ebiranda, weetaaga ebirandizo nga ebisinga obulungi byebyobubaawo, yadde nga byabuseere.
Obuwanvu obwekigero obwekirandizo
Ebirandizo birina okuba mitta bbiri oba bbiri n‘ekitundu kuba ebimpi enyo biretela emimwa gyebijanjaalo okumenyeka amakungula nega kendeera. Atte bwebiba ebiwanvu ennyo, ebirime bikoma okukula n‘olwekyo n‘ebisaako ebijanjaalo bitono. Oluvanyuma lwa wiiki bbiri ku ssatu, ebimera bitandika okukula era biba byeetaaga ekibiwanirira. Wiiki bbiri oluvanyuma lyokusimba , ebijanjaalo birina okulandizibwa ekyitali ekyo bijja kulandira wansi bisseeko ebijanjaalo bitono ddala.
Kyekolere ggwe kkennyini
Okwekolera ebirandizo ebibyo, osobola okusimba emitti nga kalitunsioba ebirime byebayita vernonia olwo osobole okukola ebirandizo okuva mumatabi.. Engeri endala kwekufuna ebirandizo okuva munsagazi. Ennimiroyo erina okuba nga ebikiddwa no muddo ebijanjaalo bireme okulandira kuttaka. Kati funa ebirandizo obisimbe kitundu kyamita okuva kikimu okudda kukirala munnyiriri. Lekawo ebbanga lyakitundu kyamita wakati wennyiriri. Kyamugaso okuzisimba n‘ezinyweera muttaka empewo ereme okuzisuul.Ekilandizo kimu kisobola okuwanirira ebikolo byebijanjaalo bitaano. Okukola obutereevu osobola okugattamu empagi ezamita 5 obuwaanvu n‘emitta 5 buli emu okuva kuginnaayo. Yunga empagi n‘omuguwa oba akati. Oluvanyuuma lwokukungula, ebirandizo birina okukuumibwa mukisikirize oba ssi ekyo omusana guyinzaq okukosa obubaawo. kakasa nti obusimba obusulinkanyizza amazzi gasobole okuyitako nga gakka wansi. Ekitundu kyebirandizo ekyaali muttaka kyekirina okudda wagulu kisobole okukala.Bwoba olimye kasooli munnimiroyo osaana ojjeeko ebikoola n‘eminwe okuume ebikoola obyeyambise nga ebirandizo sizoni eddako. Ebikolo bwebiba binafu, osobola okubigattabina wakati waabyo n‘obisirimu akati byo nobituggira waggulu.
Osobola era okulima ebijanjaalo munnimiro emu nekassoli. Olwo ebijanjaalo birina okusimbibwa oluvannyuma lwomweezi mulamba nga kasooli asimbiddwa bireme mulemesa kukukula.