Okukungula obulungi ssoya, okumukungulira mu kiseera ekituufu n’okwongera ku bungi bwe; kawo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_iztE9Jhegc

Ebbanga: 

00:05:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

povertyactionorg
»«

Ebiruubirirwa by’abalimi kwe kufuna amakungula amalungi nga omwaka oba ssizoni eweddeko. Waliwo ebikolebwa okulaba nga okulafuubana kw’omulimi tekufa ttogge. 

Okulamba olunaku lw’osize kya mugaso kubanga buli kika kikula ne kituuka okukungula mu kiseera ekitali kyekimu n’ekika ekirala. Kino kiyamba omulimi okubala obulungi ekiseera ekirime we kinaatuukira okukungula. Mu ssoya, ebika ebimu ebya ssoya bikula mangu era bisobola okutwala ennaku wakati w’ekinaana mu ettaano n’ekyenda mu ettaano nga bituuse okukungula, so nga ebika ebirala birwawo era bisobola okutwala wakati w’ennaku kikumi kkumi na ttaano n’ekikumi mu abiri. Laba nga okola enteekateeka esaanidde ey’okukungula nga ekiseera eky’okukungula kisemberedde.

Obubonero obulaga nti ekirime kituuse okukungula 

Nga ssoya ne kawo bituuse okukungula, ebikoola bifuuka bya kyenvu era binogoka ne bigwa. Eminyololo gikyuka langi okuva mu ya kiragala ne gifuuka gya kyenvu nga ebirime kisemberera okutuuka, era bwe bituuka langi ekyuka okuva mu ya kyenvu n’edda mu ya kikuusikuusi oba kitaka okusinziira ku kika ekyasimbibwa.
Eminyololo egituuse girina okubeera emikalu nga ogikutteko, era osobola okulabira ku ssoya oba kawo omu okulaba oba atuuse okukungula. Ku ssoya, langi y’ensigo ekyuka okuva mu kiragala okudda mu kyenvu omunaabuufu, so nga ku ssoya, langi ekyuka okusinziira ku kika kye wasimba.

Okukungula ebirime eby’empeke

 Okusobola okufuna ebirime eby’empeke eby’omutindo, bikungule nga obubonero obulaga nti ekirime kituuse bweragirawo.  Okukungula ebika by’ebirime ebyasa eminyololo ne biyiwa ensigo tekulina kulwisibwa.
Okukungula kusobola okukolebwa nga weeyambisa ekiso oba nnajjolo nga ekikolo ky’ekimera okitemera wansi ddala oba okukikuula n’obiteeka mu bifo eby’enjawulo mu nnimiro naddala nga obiteeka ku ttundubaali.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:39Mu kulafuubana omulimi kw'ayitamu nga alima ekirime ekyo kubeera kuluubirira kufuna makungula amalungi nga okukungula kutuuse.
00:4001:00Bulijjo jjukira okuwandiika olunaku kw'osigidde.
01:0101:40Ebika bya ssoya ebimu bikula ne bituuka mangu okukungulwa, ebirala birwawo. Kawo, okutwalira awamu atuuka mangu okukungula.
01:4102:14Kola enteekateeka ezisaanidde nga ekiseera ky'okukungula kisemberedde.
02:1503:55Obubonero obulaga nti amakungula gatuuse mu kawo ne ssoya.
03:5604:35Kungula n ga obubonero bw'okukungula bweragirawo. Okukungula ebika by'ebimera ebyasa eminyololo ne biyiwa ensigo tekuteekeddwa kulwisibwa.
04:3605:25Okukungula kusobola okukolebwa nga weeyambisa ekiso, nnajjolo oba okukuula n'obituuma mu bifo eby'enjawulo mu nnimiro.
05:2605:40Obubonero

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *