Obujanjaalo obuyitibwa green gram oba mung bean bwe bumu ku birime by’mpeke ebirabika ennyo mu nsi yonna.Abalimi bwebalina obujanjaalo bunno ba beera balongosa ettaka lyabwe.
Abalimi abasinga bafiirwa ebirime byabwe olw’obuwuka n’endwadde ku kiseera ky’okukungula n’okutereka n’olwekyo obujanjaalo bwa green gram bwetaaga okufiirwako obulungi ku kiseera ky’okukungula n’okutereka.Mu kiseera ky’okukungula ekisooka,tandika nakunoga ekitundu obujanjaalo mwebuli obukaze, kinno kiba kikyusiza langi okkuva mu kiragala nga akize mu kitaka alimu oluddugavu.Bikuumire mu musana okumala enakku 2-3.Jjamu ensigo oluvannyuma lw’ennaku 5-7 era okaze omubeera obusigo okumala ennaku 2-3.Okukaza nga kuwedde,obubeeram mu obujanjaalo bukubwa era n’okuwewa kukolebwa.
Ebikolebwa ng’okukungulaa kuwedde
Okulonda ensigo ezisinga okuba ennungi ez’okusiimbibwa mu sizoni eddako kukolebwa ng’okukuba obujanjaalo kuwedde n’okubuwewa.Obusigo busigwako butto era nebuterekebwa mu nsuwa eteekeddwa ku ttaka.Gattamu ebikoola by’ennimu ne kaamulali omumyufu era ensuwa ogisibeko akagoye aka kotoni osibeko akawaya okusobola okwewala emmese.
Empeke ez’okulibwa ziterekebwa mu bisawo ebitukula oba emikebe n’ebikoola by’enniimu bigattwa mu awamu n’ensigo ezinnyikiddwa mu munnyo okusobola okwewala ebitonde ebiyinza okubyonoona.
Okutereka empeke.
Ensuwa oba ebisawo tobikuumira wansi era biteeke wala n’ekisenge.Ensigo oluna ozikebera buli kaseera era ensigo ezikoseddwa zirina okugibwamu.okukungula n’okutereka wekukolebwa obulungi ojakufuna empeke eziri ku mutindo nga nnyingi.