Ebiwuka by‘ebibala bibiika amagi gaabyo mu bibala n‘enva endiirwa tusobola okwewala ebiwuka by‘ebibala nga tukungaanya n‘okusaanyaawo ebibala ebigudde.
Ebiwuka by‘ebibala birumba era bifumita ebituli ku lususu lw‘ebibala bingi n‘enva endiirwa okubiika amagi gaabyo. Ebibala bigwa nga tebinnayengera era bwe bisalibwamu, mubaamu envunyu era singa ebibala ebyo tebungaanyizibwa, envunyu zitambula okuva mu bibala okudda mu ttaka.
Oluvannyuma lwa wiiki emu, envunyu ziva mu kibala nezidda mu ttaka mwezifuukira ebikalappwa bya kitaka era oluvannyuma lwa wiiki emu ekiwuka ky‘ekibala kiva mu buli kukalappwa.
Saanyaawo ebibala ebigudde
Ebiwuka by‘ebibala bingi bisobola okukulira mu kibala kimu ekigudde olwo ne kireeta obwetaavu bw‘okusaanyaawo buli kibala ekigwa kubanga bigwa lwakiri omulundi gumu mu buli wiiki.
Okuggyako emiyembe n‘emicungwa, ebiwuka by‘ebibala bikosa n‘ebibala ebirala nga ovakkedo n‘ebibala by‘ebikoliiso. Bikungaanye nabyo obisaanyeewo. Ebibala by‘ebikoliiso bikula mangu okusinga emiyembe era bisobola and can harbour ebiwuka by‘ebibala noolwekyo bikungule nga bikuze era okungaanye era oyokye zonna ebigudde.
Osobola okusaanyaawo ebibala ebikungaanyiziddwa ng‘obiziika mu kinnya ekirina obuwanvu bwa mita emu okukka obikkeko ettaka kungulu. Era osobola okuteeka ebibala ebigudde mu mikebe eminene era ogikkeko onyweze oba osobola okubiteeka mu buveera obuddugavu obutalina bituli nga busibiddwa bulungi oluvannyuma lw‘okuteekamu ebibala ebirondeddwa era obiteeke mu kasana okumala wiiki emu oba bbiriokutta amagi. Osobola okukozesa ebisigalira by‘ebibala nga ekigimusa mu nnimiro.