Obutabeerawo oba okubeerawo ekkomo ku bungi bw‘ensigo ez‘omutindo ez‘ebika by‘ebikajjo ebirongooseemu eri abalimi b‘ebikajjo kusoomoozebwa kwa maanyi mu kwongera ku bungi bw‘ebikajjo ebirimwa n‘obungi bw‘amakungula.
Ensimbo z‘ebikajjo ezitemeddwa oba ebitundu by‘ebikajjo z‘ensigo ezikozesebwa mu kusimba ebikajjo okw‘okukola amagoba era buli kitundu kiyinza okubeerako omutunsi gumu, ebiri oba esatu. Okusereba kw‘omutindo mu bika by‘ebikajjo ebimanyiddwa kufiirizibwa okw‘empolampola okuli mu busobozi bw‘ekikajjo okubeera n‘amakungula amangi era kireetebwa ndwadde, ekyeya, embeera y‘ettaka, n‘ebirala. Enkola y‘okumereza ekimera mu magezesezo ga ssaayansi nga okozesa obutaffaali bwakyo nkola esaanidde okuzaazaamu amangu ensigo ez‘ebika by‘ebikajjo ebipya. Anti mu nteekateeka esobola okuwanirirwa mu kulima ebikajjo, kikendeeza ku buzito bw‘ekisimbibwa ng‘ekikajjo era okukozesa enfukirira ey‘amatondo mu kumeza endokwa kuyambako mu kufuna amakungula amangi.
Emitendera gy‘okukola ensimbo oba ensigo z‘ebikajjo
Ku mutendera ogusooka, ebika by‘ensigo z‘ebikajjo zikozesebwa mu mmerezo y‘ensigo. Ensigo z‘ebikajjo ziteekebwa mu bbugumu era ne zifuuyirwa eddagala eritta obulwadde bw‘olukuku oba fungi. Omutendera ogwokubiri gulimu okufuna ebikajjo okuva mu mmerezo y‘ensigo okumera endokwa mu mmerezo ey‘endokwa. Ziggibwamu nga ziwezezza ebbanga lya myezi mukaaga ku munaana okukuza emmerezo ezeevaamu eby‘okutunda.
Omutendera ogwokusatu gulimu okukuza endokwa mu mmerezo ezivaamu eby‘okutunda nga ebiri mu mmerezo zino biba biggiddwa ku mutendera ogwokubiri. Okuteeka ensigo mu bbugumu kijja kuzikuuma obutalumbibwa bulwadde okumala emyaka ng‘etaano.
Okujjanjabisa ebbugumu
Amazzi agookya, empewo erimu otuzzizzi, n‘omukka oguva ku mazzi agookya by‘ebikozesebwa mu nkola eno. Enzijanjaba empanvuko ey‘okukozesa amazzi agookya ebeeramu okujjanjaba ensigo ku bbugumu lya kigero kya ddiguli amakumi ataano okumala eddakiika makumi abiri.
Mu kukozesa omukka omuli empewo oguva ku mazzi agookya, ebitundu by‘ebikajjo biteekebwa mu ttule ne bikuumirwa mu busenge bw‘enkola eno. Omukka ogwokya wamu n‘empewo biyisibwa mu busenge ebitundu by‘ebikajjo mwe bijjanjabirwa era ebikajjo ebyo bijjanjabirwa ku bbugumu lya ddiguli ataano okumala essaawa nnamba era enzijanjaba eno ekola bulungi ku bulwadde obukwata ebikajj obuyitibwa grassy shoot disease.
Okusimbuliza endokwa
Ekigimusa kya NPK kiteekebwa mu mmerezo mu bipimo bya bikumi bibiri nsanvu mu ttaano ku nkaaga mu bbiri n‘obutundu butaano ku kikumi kkumi na ssatu n‘obutundu butaano (275:62.5:113.5). Teekamu kkiro ataano ez‘ekirungo kya nitrogen ne kkiro nsanvu mu ttaano ez‘ekirungo kya potassium omwezi gumu nga tonnaba kuggya bikajjo mu mmerezo. Okusimbuliza kukolebwa mu bbanga lya wiiki nnya ku ttaano oluvannyuma lw‘okusimba ebitundu by‘ebikajjo ebikola ng‘ensigo mu mabanga ga ssentimmita kyenda ku kyenda. Ebitundu by‘ebikajjo ebyo bifuuyirwa eddagala eritabuddwa eritta olukuku(fungi) ku buli mutendera.
Okusimbuliza nga okozesa obuveera kwetaagamu obuveera obulina obugazi bwa ffuuti mukaaga ku nnya nga bulimu obutuli mu ntobo.