Okra asimbibwa butereevu mu ttaka kulwebibala bye, naye okusimba ensigo ennyingi buli kinnya kikonzibya enkula y‘ekirime namakungula.
Okufuna endokwa ya okra ennungi, tandika n‘ensigo ey‘omutindo era okole n‘endabirira ennungi.
Okufuna ensigo ey‘omutindo
Osobola okufuna ensigo ennungi ey‘omutindo ngoguze ennongoseemu oba okufuna ensigo okuva mu bika ebyabulijjo. Okufuna ensigo okuva mubika ebyabulijjo, yawula ebirime ebirina ebikolo ebigumu ate nga binene era kungula ensigo okuva mubibala ebinene. Ng‘ebibala ebyengedde tebinnagwa, susa ebibala olondemu ebisingamu obunene, ebitayononese era ezitaliiko bikaata. Bwomala okufuna ensigo, zikalize mukikome kukifo ekiyonjo era otereke mukikebeekitayingiza mpewo na bunyogovu era okikuumire wala n‘ekitangaala.
Enteekateeka y‘ennimiro
Okra asimbibwa ku buli kika kya ttaka nebwoba totaddeko bigimusa era asobola okusimbibwa munnimiro eyabullijjo oba bbeedi mu mabanga ga 40 x 80cm. Ku lwamakungula amalungi teekateeka ennimiro yo mumusana era okole olukabala olusooka ngotematematema ettaka. Nga tonnasimba ensigo ziyina okusooka okumerusibwa. Simba ensigo 2-3 mu buli kinnya mubuvanvu bwa ssentimita biri era bikako ettaka. Bwaba asimbiddwa ku bbeedi, ffukirira ng‘omaze okusiga era bwomala enteekateeka y‘okusimba bikka.