»Okukola ekifo awakolerwa ekigimusa ky‘ensiringanyi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/making-vermicompost-bed

Ebbanga: 

00:16:18

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

WOTR
“Ng‘okozesa obuveera bw‘ekigimusa osobola okusiba awakolerwa ekigimusa. Teeka emitendera gy‘ebivunda mu kifo ewakolerwa ekigimusa era ofukirire. Teekamu ensiringanyi oluvannyuma lwa wiiki emu. Bikka ekifo awakolerwa ekigimusa n‘obukutiya era ofukirire buli lunaku. Kakasa nti ekigimusa kiri mu kisiikirize.“

Ekigimusa ekirimu eddagala n‘eddagala erifuuyira ebirime ebikozesebwa mu kulima bikendeeza ku makungula era bikosa ettaka olw‘obutabikozesa mu ngeri entuufu.

Ennima etaliimu kukozesa ddagala eyongera ku makungula g‘abalimi nga bakozesa ebintu eby‘obutonde ebiriwo okukendeeza ku ssente ezikozesebwa. Ekifo ekirungi okukoleramu ekigimusa ky‘ensiringanyi kye kino: Ekifo ekiseeteevu ekiri mu kisiikirize nga kiri kumpi n‘ewalundirwa kirungi okukolerwamu ekigimusa ky‘ensiringanyi. Ebifo ebitera okulegamamu amazzi era ewakulira emiti gy‘enkooge, neem ne boabab birina okwewalibwa kubanga bisikiriza ebimera by‘omu nsiko ebikozesa ebikozesebwa eby‘obutonde mu kifo awakolerwa ekigimusa.

Ekifo awakolerwa ekigimusa ky‘ensiringanyi

Bikkula era otunge obuveera bw‘ebigimusa obukadde nga bwoze era nga temuli bituli ng‘okozesa wuzi za nylon. Bikka madirisa asatu n‘ekkutiya enganda eza mita nga emu ku bbiri obugazi ku buli ludda lw‘ekifo. Kino kikolebwa okusobozesa empewo okuyingira olwo ensiringanyi zisobole okuwonawo.

Lima akaserengeto akatonotono ku ttaka era oggyemu amayinja amanene. Pima bokisi y‘ekigimusa era ogigatte ku nkondo z‘embaawo ozisibe ku nsonda ne ku njuyi ez‘enjawulo olw‘obuwangaazi.

Yala akagoye akaweweevu oba emifaliso emikadde ku ttaka era oyaleko akaveera kungulu. Fumitafumita akaveera nga tonnateekamu kigimusa kisobozese obukyafu bw‘ensiringanyi okukulukuta mu kalobo.

Okuteekateeka ekigimusa ky‘ensiringanyi

Teeka emitendera gy‘ebivunda n‘obusa bw‘ente obutaliimu mayinja n‘ebintu ebiteetaagisa ku kifo awakolerwa ekigimusa era ofukirire. Gattako emitendera gy‘ekigimusa ekipya kumpi ne waggulu w‘ekifo era obikkeko olugoye olukadde.

Oluvannyuma lwa wiiki emu, gatta ensiringanyi mu kigimusa n‘amazzi emirundi ebiri olunaku. Bikka ku mabbali era osime ekinnya wansi mu nsonda okukungaanya obukyafu bw‘ensiringanyi. Kuuma obukyafu obwo obw‘amazzi mu kisiikirize ng‘otadde ebituli ku kisaanikira.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:03okukozesa ennyo ekigimusa ekirimu eddagala n‘eddagala erifuuyira ebirime ebikozesebwa mu kulima bikendeeza ku makungula era bikosa ettaka. Ennima etaliimu kukozesa ddagala ekozesa ebintu eby‘obutonde ebiriwo okukendeeza ku ssente ezikozesebwa.
01:0402:27Ekigimusa ky‘ensiringanyi kyongera ku magoba, obugimu bw‘ettaka n‘okukuuma amazzi.
02:2803:50Obuveera bw‘ekigimusa obukadde nga bwoze era nga temuli bituli bukozesebwa okukola ekifo awakolerwa ekigimusa. Wuzi za nylon zikozesebwa okutunga obuveera awamu.
03:5105:07Buli luuyi lw‘ewakolerwa ekigimusa lulina okuba nga amadirisa kabikkiddwaako obutimba. Ekifo ekiseeteevu ekiri mu kisiikirize kirungi okukolerawo ekifo ky‘ekigimusa.
05:0806:50Ekif0 ekyakaserengeto nga temuli mayinja manene kirina okulimibwa olwo enkonto ez‘embaawo ne ziteekebwamu. Yala akagoye akaweweevu oba emifaliso emikadde ku ttaka era oyaleko akaveera kungulu.
06:5108:29Jjuza emitendera gy‘ebivunda n‘obusa bw‘ente mu kifo awakolerwa ekigimusa. Sima ekinnya wansi oteekewo akalobo okukungaanya obukyafu bw‘ensiringanyi.
08:3009:35Gattako emitendera gy‘ekigimusa ekipya kumpi ne waggulu w‘ekifo era obikkeko olugoye olukadde.
09:3610:50Oluvannyuma lwa wiiki emu, gatta ensiringanyi mu kigimusa n‘amazzi
10:5112:20Kuuma obukyafu obwo obw‘amazzi mu kisiikirize ng‘otadde ebituli ku kisaanikira.
12:2114:00Ekigimusa ky‘ensiringanyi kiggibwamu na ngalo era likuumibwa mu kisiikirize. Ensiringanyi zisobola okutundibwa ne zivaamu ssente.
14:0116:18Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *