Abalunzi bakozesa enkola enongoseemu okufuna amata okugeza enkola eyokukamisa ebyuma eyamba enyo abalunzi wamu n‘ebisolo.
Okwongerako abalunzi b‘ente z‘amata balina okukama emirundi esatu mu lunaku kuba kino kyongera ku bungi bw‘amata era nekikendeeza ekkabyo. Okugatako, enkola eno emanya mangu enkyukakyuka singa waberawo obulwadde oba obukosefu olwo abalunzi nebabukwasaganya nga bwekiba kyetagisiza.
Ebirungi mu nkola eno
Ekisokera ddala enkola eno eyamba okufuna amata amayonjo obulungi nga gatukira ku bwetaavu bwabo abaganywa.
Era enkola yokukamisa tekinologiya eretera abalunzi okumanya nti ente zifunye ebbanyi olwo nebalitangira okusasaana.
Okugatako, enkola eno ekakasa nti amata agakamibwa mayonjo nekitangira endwadde.
Era enkola eno ekakasa nti obungi obukamidwa buwandikibwa nga ekozesa „computer“ nekiyamba okuganya obujurizi okusinzirwa okulongoosa faamu.
Era enkola yokukamisa tekinologiya eyanguyisa okukama ente ku faamu era nekendeeza okukosebwa kwe nywanto.
Abalunzi abalina ebyuma ebikama bakekereza ku sente ezisasanyizibwa ku bakozi era nga bategera buli bungi obuva mu nte kino omu.
Nekisembayo, enkola eno etereka ebyafaayo bya buli nsolo ku mata agaze gazivaamu olwo nekiyamba omulunzi okumanya singa wabaawo enkyukakyuka mu mata nakola ekisanide okukolebwa.