Emwanyi nkulu mu nyigiza y‘abalimi naye ekosebwa nnyo endwadde.
Obulwadde obusinga okukwata emwanyi mulimu Coffee Berry Disease (CBD), Coffee Leaf Rust (CLR) ne Bacterial Blight of Coffee (BBC). Obubonero obukulu obulaga CBD mulimu ebipaapi ebya kitaka ebikwata ebimuli, obutondotondo obudugavu ku mwanyi eza kiragala, ekikuta ky‘omuti okufuuka kitaka n‘ebipaapi ebya kitaka nga birimu amabala amaddugavu. Enzijjanja ya CBD mulimu okusalira nga bukyali, enkwata, okukendeeza amatabi, okukyuskyusa mu bikolebwa wamu n‘okufuyira eddagala eryetagiisa, okusiimba ebika ebigumira endwadde nokukyusa obutonde bwezo ezirwaala amangu n‘ezitalwala nga oziyuunga.
Endwadde endala
Obubonero bwa coffee leaf rust mulimu ebipaapi ebifumuuka ebya kyenvu oba kachungwa ebikwata wansi w‘ebikoola. Ekikoola kyona kiyinza okukwatibwa era nekigwa singa obulwadde bweyongera obubivirako okuwotoka. Enzijjanjaba ya CLR yemu ne ya CBD
Bacterial Blight of Coffee bwe bulwadde obulala obw‘amaanyi obukwata emwanyi. Obubonero bwabwo mulimu ebipaapi ebidugavu n.obusuwa okujjulamu amazzi nga birabikira ku bikoola nga enkuba etandise okutonya. Ebikoola ebifudde n‘ebikala tebigwa naye bisigala byekutte ku muti era obulwadde butandikira empeke wezekwatira ku matabi olwo nebukirira wansi. obulwadde bwebweyongera, omuti gwona kusobola okufuuka omuddugavu n‘egubiririra.Ebimuli n‘obumwanyi obwakavaayo bwefunya era nebufuuka budugavu ekivirako okufirwa ekimera kyona. Endabirila entuufu nga osimba endokwa ezitalina bulwadde, okutemako amatabi agalwadde, okusimba emiti egy‘ebisikirize negyo egikwata embuyagaera n‘okufuyira nga okozsesa eddagala eritta obuwuka obuvaako endwadde. Temako obuwakatirwa ku miti gyona mangu nga wakakngulako okukendeeza ku kubeerawo kw‘obulwadde.
Fusarium wilt; Ono aleeta okuwotoka n‘omuti gwona okukalira ddala negufa era alwanyisibwa na kukendeeza bungi bwa asidi (pH ) mu taka, okwewala ebiwuka ebikuba ebituli mu miti wamu nokukuula nga bwoyokya emiti gyona emirwadde.
Okugatta emiti
Kino kiyamba okukyusa ebika ebikwatibwa amangu obulwadde okufuuka ebigumira endwadde nga oyunga ebikolo ebyenjawulo. Amatabi(scions) galondebwa ku maama w‘emiti egyagesezebwa edda ku coffee berry disease ne coffee leaf rust. Nga okozesa emiti emiyunge, tewaberawo nkwatagana ne nima eyabulijjo era kikendeeza ku sente ezandikozesebwa okusigula emiti gyona ate nokuddamu okusimba.