Olwokuba ozomugaso mukuvaamu ebirungo ebinene nebitono, omutindo n‘obungi bw‘enva endirwa bisinzira kungeri gyezirimibwamu.
Bwetuba tugimusa, kaksa nti ettaka olitegese bulungi nga likabalindwa paka ku 20cm okuka wansi. Ebirime byetaaga ebirungo ebimala mubungi obumala okusobola okukula obulungi.
Wabuala, ebirungo ebyetagisa okutekebwamu kyetaaga kusooka kukebera ettaka nolitegeera.
Okukebera ebirungo
Funa ebipimo ebyenjawulo eby‘ttaka okuva mu nimiro okulikebera ekibulamu nga okozesa ekyuma ekya 2 cm obugazi x 15 cm obuwanvu ofune entumu 40 okuva mu nsonda ezenjawulo okuva awagenda okulimibwa. Entumu zitabule wamu era ofuneko 500g ezokukeberwa era okebere olunyo (pH) nga okozesa akakebera era bweruba nga luli wansi wa 6 munimiro tekamu layimu (lime) 250g buli square metre.
Okwongerako, okukebera ebirungo ebirala ebibula mu ttaka, kozesa akakebera oba wetegereze obubonero obulaga ebitali mu bimera ebiriwo.
Emigaso ge‘ebirungo
Ebimera byetaaga ekirungo kya Nitrogen okukula nolwekyo, ekirungo ekyo bwekiba kikendede olabira ku bimera ebikonzibye, ebikoola ebyengeredde ate ebikoola ebikulu biyinza okufuuka kyenvu nebifa nga tebinatuusa. Ekirungo kya Phosporus kyetagibwa mukukola emirandira omirungi wamu nekimera nga kitandika okukula nolwekyo phosporus bwaba omutono olabira kunikola ebikuze nga bifuuka bya kakobe. Ate era Potassium omutono omulabira ku bikoola ebikulu okufuuka kyenvu oba kitaka gyebisembera.
Okutekaamu ebigimusa
Okweyongerayo, sima ebinya bya 10cm okuka wansi mu nimiro mansa ebigimusa bibune buli wamu er obiziike mu ttaka. Ebirimere ebisimbulizibwa nga bireese emilandira gyomumabali, ebigimusa biteeke mu mabari wakati wenyiriri era obikuume nga binyirira nga obifukirira NPK n‘obusa buli wiiki 2 ku 4.
Ekisembayo, ettaka liwe kyeryetaaga okusobola okulifunamu ekiwera