Okufukirira ebirime nga okozesa obuuma obufuuwa amazzi wamu n‘okutonyeza kitaasa okw‘onooneka kwa mazzi okwawukanako n‘okufukirira ebirime nga weyambisa enkola y‘okwanjaaza amazzi naye emiwondo gy‘okugiteekawo mingi. Tekinologiya omupya agungizidwaawo.
Okufukirira ebirime nga weyambisa ensuwa z‘amazzi eziziikidwa ku ttaka nkola nyangu nyo yakukekerezaamu mazzi era ekozesebwa okulima ebibala nenva endiirwa mubitundu ebiyina eneyisa nga eyeddungu wamu nebiriraanye eddungu. Mukufukirira kuno, ensuwa ziziikibwa mu ttaka nezijjuzibwa amazzi. Amazzi gafuluma mpolampola nga gayita mubutuli obuli mu nsuwa eno okutuuka kumirandira gy‘ekimera. Enfukirira eno nnungi nnyo okozesebwa ku ttaka erifuuse ery‘olunyo.
Esobola okukozesebwa okulima kukaserengeto nekuttaka eritakuuma mazzi bulungi okufukirira kw‘okukozesa obuuma obufuuyira amazzi webutasobola kw‘etagibwa. Emido giba mitono kunkola y‘okufukirira eno kubanga amazzi gagenda ku mirandira kyekirime kyokka. era enfukirira eno siyasente nyingi era nyangu ya kozesa.
Okuteekateeka enfukirira eno ey‘okuziika ensuwa za amazzi mu ttaka
Londa ensuwa eziweza lita za mazzi nga 10 ezikoledwa mu bumba eriyisiddwako muky‘okero nga ziyina omubiri gwa 1cm. Sima ekinya eky‘etoloovu mungeri nti bweba etekedwa mu ttaka obulago bwaayo busigala wagulu we ttaka. Tekamu ebigimusa ebiva mu nimiro awo ojjuze ensuwa na mazzi obikeko.
Buli nsuwa ebisiwaza ettaka mubanga lya 40cm okuva ensuwa weeri. Munimiro yenva endiirwa, ziika ensuwa mubanga lya 40cm okuva kweemu okuda kundala. Kubinazi, lekawo ebanga lya 60 ku 90 cm okuva kunsuwa emu kuda kundala. Kumiyembe, ziika ensuwa mubanga lya 50 ku 75cm okuva kukikolo naye ate ku miti j‘ebibale emikulu egisimbidwa mubanga lya mita 4 okuva kumuti ogumu okuda kumulala, ziika ensuwa mumakati g‘emiti ebiri.