Kyamugaso nnyo okufaayo ennyo ng’otambuza ebukutiya bw’ensigo oba ebw’emmere y’empeke kuba ebintu ebisongovu bisobola okuyuza obukutiya bwo nekikuviirako okufiirwa byokungudde.
Nga tonatandika kuteeka makungula go ku mmotoka,sooka girongoose ogyeko ebyasigalira ebiba biriko,obutuli wansi ne ne waggulu w’emmotoka webuba kwebuli buzibe oluvannyuma tikka obukutiya bwo mungeri effaanagana okusobola okwewala okutikka obukutiya obungi.
Okutikka nga kuwedde,ebukutiya bubike ko okusobola okwewala ebinnyonnyi n’enkuba okwonoona amakungula go,Waggulu ku bbaati ly’emmotoka teeka ko obutti obwewese mu obukoleddwa mu mabanda oba ekyuma okusobola okuziyiza amazzi agawera okulegama waggulu ku mmotoka ,oluvannyuma bikka waggulu era ekibikka kituukize ddala wansi okuvva waggulu okusobola okubikka amakatikati g’ekitanda ky’emmotoka era okisibe bulungi.
Mu kiseera ky’okutambuza obukutiya,kakkasa nti oyimirira emirundi egiwera mu kubo osobole okukebera ku mbeera y’omuguggu gw’otambuza era wekiba kyetaagisa ddamu opange bulungi.