Muwogo yemu kumere elimwa ennyo okulibwa wamu n‘okutundibwa mu Afrika. Elimibwa abalimi wamu n‘abagata omutindo ku muwogo.
Ekigenge ky‘ekimu kunddwade ezisinga okukosa ennima ya muwogo.
Obubonero
Ekigenge kiva ku buwuka obusirikitu obuyitibwa cassava mosaic virus (mu luzungu) akasasanyizibwa obuwojjolo obweru ennyo ku muwogo white flie(mu luzungu).
Ebirime ebilwadde osobola okubirabira ku bikola ebitangalivu mu langi yakiragala oba obifuna obutolobojjo bwakyenvu ku bikoola.Muwogo aba n,obukoola obutono ate nga bufufunyadde.
Obulwadde tebusobola kuwonyezebwa naye busobola okwewalibwa.
Okwewala obulwadde bw‘ekigenge
Kozesa nga bulijjo emiti egisimbibwa okuva mukifo ekyakakasibwa oba ku batunzi abawebwa olukusa okutunda emiti ejisimbibwa. Simba muwogo owembala alina obusobozzi okugumira obulwadde.Weyambise okukyusa kyusa eminiro okusobola okukyankalanya engeri akawuka kano jyekasasana mu. Kulanga ela oyokye ebirime ebilwadde.
Lima nga bulijjo ekika kimu ekyamuwogo munimiro.
Bulijjo wekebejje enimiiro okuzula okulumbibwa/okuzindwako kw‘obulwadde.
Wewale nga okusimba emiti jamuwogo emilwadde nga otandikawo enimiro.
Gula oba funa nga ebisimbibwa bya muwogo okuva kubatunzi oba abantu abakakasibwa.
Funa okuwabulwa okuva ku bakugu. Emisoomo giwebwa ebitongole ebinonyeleza.