Obumyu tebuza bwenkulumu era bulya bimmera. Bwetaaga ebirungo ebizimba omubiri,ebireeta amannyi,zivitamini n‘ebyo ebigeza omubiri mu bipimo ebiragiddwa okusobola okubusobozesa okula obulungi.
Abalimi balina okuliisa obumyu emmere yabwo ey‘empeke,omuddo ogukaziddwa,ebikoola ebikaziddwa ne carrots.Osobola okulisa obumyu mu ngeri bbiri;ng‘obuwa emmere engule nga eyo ekoleddwa mu kolero,omuddo ogukaziddwa n‘amazzi agamala.Omuddo ogukaziddwa gwanguya ku nkubwa y‘emmere mu lubutto .
Okozesa emmere nga cabbaage,carrot n‘amalagala.Woba owa obumyu emmere eyebikoola bireke biwotoke bisobole okuvaamu amazzi. olwegulo wanika omuddo ogukaziddwa ogumala,amazzi n‘ebirala ebiyongerwamu.
Emitendera gy‘okuliisa mu obumyu.
Akamyu ak‘emyezi essattu n‘okwambuka kalya grams 150 ,akamyu akalina olubutto kalya grams 180 ate akayonsa kalya grams bisattu ku binna buli lunaku. Akamyu olina okawa amazzi kikayambe ku nkuba y‘emmere mu lubutto.Omulunzi alina okuma obuyumba bw‘obumyu nga buyonjo.
Obumyu bulambule buli kasera.Akamyu akalamu kaba keyagala,kaba n‘obwoya obuwewevu era obubi bwako buba bwetolovu nga bugumu.Bulijjo webuuze nga ku mu mannyi woba olina kewekengede okuba akalwadde.
Endiisa embi
Emmere y‘ebikoola embisi eviirako obumyu okuba n‘omukka mu lubutto.Obumyu tebuza bwenkulumu ekibuleetera okufuna ekidukano era akamyu kayinza okuffa.Abalimi tebalina kuwa bumyu mmere nnyingi naye babuwe ebirungo bibuyamba okukula obulungi.
During weaning do not feed the rabbits lots of concentrate, proteins and vegetables with a lot of water as it causes bloating.Akaseera k‘okuwa obumyu obutto emmere wekatuuka ,tobuwa mmere ezimba mubiri,n‘emmere ey‘ebikola erimu amazzi kuba bujja kufuna omukka mu lubutto.
Obulwadde obuluma obumyu
Obulwadde obukwata amattu g‘obumyu(Ear canker)buziba amattu era nebubuleetera okusiyibwa,okumyukirira n‘okuzimba.Kozesa eddagala eriyitibwa (medicated liquid parraffin) okusobola okubuwonnya.
Obulwadde obuyitibwa Hepatic coccidiosis bukwata obumyu obutto okuva ku maama wabwo era bunno bubeera mu mawuge.
Obulwadde obukwata ebyenda busobola okubyonona awo osobola okozesa eddagala eriyitibwa coccidiosis okusobola okubbujjanjaba.
Obulwadde bwa pneumonia buva ku kiyumba ky‘obumyu okuba nga tekiyisa awamu n‘okufulumya empewo obulungi.