Bbiringanya nva ndiirwa eziwooma era ezirimu ekiriisa ezisobola okulimibwa kubuli kika kya ttaka okuyita mu mwaaka.
Mukw’eyongerayo amakungula geyongera nnyo mubiseera by’obunyogovu kubanga bul’etera ebimuli binji okumera wamu n’okukendeera kw’obulwadde. Bulijo bbiringanya akw’atibwa nnyo obulwadde nga akasaanyi okonoona omutwe n’ekibala era kino kikendeesa amakungula.
Okulima bbiringanya
Tandika nakuteekateeka ndokwa nga tonasimba era okusimba kuyina kukolebwa okusinziira ku kika ky’osimba. Mukugattako, teekawo emifuleje gy’amazzi wakati mu nyiriri kulw’okutambula kwa mazzi obulungi ate era nga tonasimba kabala emirundi 4-5 okusobola okumulungula ettaka wamu n’okukozesa ebigimusa eby’obutonde wamu n’ebyo ebikolerere mubiseera ebituufu okw’ongeza kubiriisa mu ttaka. Mukw’eyongerayo, fukirira enimiro ya bbiringanya era otangire ebitonde eby’onoona bbiringanya.
Endabirira y’ekirime
Mu kusooka, tangira obulwadde bwakiwotokwa buno bulabibwa nga okuyita mukukala kw’ebikoola, okuggwa kw’ebibala wamu n’okufa kw’ekirime. Naye ate, tokuuma ttaka nga lirimu oluzzizi era tosimba kika kya bbiringanya kimu buli lusimba okusobola okumenya okutambula kw’ekirwadde. Mukugatako, zingiza enimiro ya bbiringanya n’akatimba okusobola okutangira ebinyonyi bw’omubbanga okw’onoona ebirime. Ekisembayo, buli kiseera koola, gonza ettaka okw’etoloola ekirime era okukungula kuyina okukolebwa buli kiseera wamu n’okwewala okufiirwa ebirime eri ebisolo by’omunsiko wamu n’obubbi.