Okulimira mu mazzi kuberamu okusimba ebimera nga tokozesa ttaka. Enima eno teyetaaga bukodyo bungi era esobola okuyigibwa abalimi.
Waliwo ebikozesebwa ebisokerwako ebyetagisa , era mubyo mulimu ensingo enyonjo, amazzi amayonjo nolusaniya olwa alumnium okwewala okutalaga. Ensigo z‘engano zitandika okumera nga wayise olunaku lumu wabula, bwoba okungula engano, olowozanga ku kika kyebisolo kyogenda okuliisa okugeza embizzi n‘obumyu olina kukungulira ku naku 6 ate ente, embuzi n‘endiga kunglira ku naku 8.
Emitendera mu kulima
Sooka oppime era onyike ensigo ezisobola okujjula ku lusaniya obutasuka saawa 4 wabula, ensigo zonna enzikiddwa zirina okubulira mu mazzi.
Bwekiggwa kenenula amazzi gonna era ozitereke nga ozisanikidde mu kalobo nga ekisanikira kiriko obutuli awayita omuka ogwobulamu (Oxygen) okusobozesa ensigo okumera.
Okwongerako tobya ensigo buli luvanyuma lwa saawa 12 nga oyiwamu olubatu lw‘amazzi era ozisukunde okukakasa nti zetabude bulungi olwo osimbe ensigo ku lusaniya oluyonjo era ozisasanye bulungi n‘omukono okukakasa nti zimerera kumu.
Kakasa nti .olekawoko akabanga akatono ku luyi olumu olw‘olusaniya emirandira gy‘obusubi obutazibikira butuli ku kusaniya. Bwoba oteeka ezokugezesa mwezikulira, olusaniya luttuuze awewunziseemu nga oluyi oluliko obutuli lwelutunude wansi
Ekisembayo ensigo z‘engano zifukirire wakiri emirundi esatu buli lunaku era okungule okusinzira ku kika ky‘ensolo kyogenda okuliisa.