»Mu faamu ya Kakuzi: Okulima ekirime kya Macadamia ekiri kumutindo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=KuL_j1xrCto&t=354s

Ebbanga: 

00:07:41

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Kakuzi Plc
»#Kakuzi​ Omutindo gw‘okulima Macadamia . okutunula mu #KakuziPlc​‘s okulima ekirime kya macadamiak kiviira ddala mukusimba mpaka ku sowaani. #Macadamia​ #Omutindo gwa Macadamia​ #Obulimi n‘obulunzi​ #SDG1​ #Obulimi​ #KakuziKE​ #KakuziMacadamia​ #SustinableAgriculture​ #KenyanMacadamia​«

Ekirime Macadamia kirime kya mugasonyo. Ekikalapwa kibala kya mugaso kubanga kiyina woyilo ow‘omugaso mukutumbula obulamu bwaffe.

Okulima n‘okusunsula

Tandikira mu kulizo nga olonda endokwa era oziyunge n‘ebirime ebirara okusobola okufuna ensigo ez‘omutindo. Endokwa zisimbibwa mu ttaka eririmu amazzi obulungi ku kaserengeto era ziwe amabanga.

Oluvanyuma lw‘okusimba, labirira emiti nga w‘eyambisa, bikuume nga tebiriimu muddo era fukirira nga bikyaali bito. Nga omaze okusiimba, macadamia agumira embeera y‘ekyeeya wabula osobola okufukirira okusobola okukuuma amakunku amalungi wamu n‘omutindo ogwaamanyi.

Omuti ogulabiridwa obulungi gutandika okussa ku myaka enna naye amakungula amalungi kutandikira ku myaka etaano. Goberera emitendera egiyitibwaamu okukebera obukulu bw‘ebibala nga tonaba kukungula. Mukukungula, ebikalapwa bikungulirwa mu bukutiya, nebipimwa oluvanyuma bitikibwa ku lukululana enyonjo era nebitw‘alibwa ku kkolero.

Mukutuuka ku kkolero, awo ebikalapwa bigibwaako ekikuta, nebikazibwa okutuusa kubungi bwa mazzi bwa 10% era oluvanyuma zitwaalidwa mukifo webinaayasibwa yasibwa eyo obungi bwa mazzi gyebweeyongerera ddala okukendeezebwaako okutuusa ku 1.5% nga okwaasa tekunabaawo n‘okwaasa nga kumaze okubaawo, ebivaamu bisibibwa mungeri nga omukka omulamya tegusobola kuyingira era nebitwaalibwa mu mawanga agenjawulo.

Okuva mukusunsula kwa macadamia, tufunamu ebikuta ebisobola okutekebwateekebwa oluvanyuma negidizibwaayo mu mu nimiro era ebikalapwa bisobola okukozesebwa nga enku.

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:29Ekirime Macadamia kirime kya mugasonyo. Ekikalapwa kibala kya mugaso kubanga kiyina woyilo ow‘omugaso mukutumbula obulamu bwaffe.
00:3001:39Tandikira mu kulizo nga olonda endokwa era oziyunge n‘ebirime ebirara okusobola okufuna ensigo ez‘omutindo. Endokwa zisimbibwa mu ttaka eririmu amazzi obulungi ku kaserengeto.
01:4002:38Oluvanyuma lw‘okusimba, labirira emiti nga w‘eyambisa, bikuume nga tebiriimu muddo era fukirira nga bikyaali bito.
02:3903:30Omuti ogulabiridwa obulungi gutandika okussa ku myaka enna naye amakungula amalungi kutandikira ku myaka etaano. Goberera emitendera egiyitibwaamu okukebera obukulu bw‘ebibala nga tonaba kukungula.
03:3103:48Mukukungula, ebikalapwa bikungulirwa mu bukutiya, nebipimwa oluvanyuma bitikibwa ku lukululana enyonjo era nebitw‘alibwa ku kkolero.
04:2904:47Oluvanyuma ly‘okwaasa, ebivaamu bisibibwa mungeri nga omukka omulamya tegusobola kuyingira era nebitwaalibwa mu mawanga agenjawulo.
04:4805:36Ebiva mu kusunsula ekirime kya macadamia tufunamu ebikuta ebikozesebwa nga nakavundira n‘eminyololo gikozesebwa pkufumba. W‘ewale okw‘ononebwa okuva ku kwaasa okutuuka ku kusiba.
05:3706:27Abakozi bakeberebwa embera y‘obulamu era nebakuuma obuyonjo obw‘omutindo okuyita mu mitendera gyona.
06:2807:41Okwekeneenya emitendera gyonna mukusunsula kiyamba okubeera omumativu kumutindo gw‘ebivaamu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *