Bw‘olunda ebinyonyi ne bikula, obeera oyagala ziveemu kingi nnyo naye oluusi si bwe kiba.
Ku wiiki 18, ezibiika ziba zirabibwa nti nkulu era mu kiseera kino olina okuziggya ku mmere ezikuza n‘ozizza ku mmere y‘ezibiika naye terina kuba ya kagwirawo kubanga eyinza okuzireetera obuzibu mu kyenda ekikuba emmere. Sooka ozikyusize mpola, tandika ng‘otabula emmere ezikuza n‘emmere y‘ezibiika okumala ennaku nga ttaano awo oluvannyuma otandike oziriisa emmere y‘ezibiika. Okubiika eggi mu lunaku, enkoko ezibiika zeetaaga ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo nga kingi, vitamin n‘ebirungo.
Ensonga ezizireetera okubiika empola
Endiisa embi. Emmere erina okubaamu ekiriisa ekizimba omubiri, vitamin, ebirungo n‘amazzi g‘okunywa amayonjo birina okuziweebwa buli kadde. Wajja kubaawo okukka mu nfulumya y‘amagi singa enkoko ezibiika omala essaawa nnyingi nga toziwa mmere na mazzi. Kikubirizibwa okuliisa enkoko emmere ekaatuuse kubanga ezizzaamu obulamu ate n‘ebiriisa okusinga emmere enkalu.
Okuziriisa ennyo. Kino kikosa obuzito bw‘enkoko ate nga obuzito bw‘ezibiika bulina okufugibwa era zirina okuba wakati wa kilo emu n‘obutundutundu mukaaga oba kilo bbiri. Enkoko ezitazitowa n‘ezizitowa zombi zibiika amagi matono.
Okwagala okumaamira okw‘enkoko. Newankubadde ezibiika ziba zaakolebwa obutamaamira, ezimu zimaamira ekikendeeza ku mbiika yaazo.Broodiness in hens. Okukendeera kw‘ekitangaala nakwo kukendeeza ku mbiika y‘amagi. Ezibiika zeetaaga essaawa 16 ez‘ekitangaala okuva ku nga za wiiki 18.
Olulyo n‘obukulu bw‘enkoko. Endyo ezibiika obulungi mulimu Rhode island red, Sussex, Australorp n‘endala. Enkoko ebiika etandika ejjakubiika nnyo naye amagi gajja kuba matono wabula ate ku ntikko, etandika okubiika amagi amaneneko agaabulijjo.
Okulya amagi wano ng‘ekoko ezimu zirya amagi gaazo singa ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo kikendeera mu mmere yaazo.
Okubulwa emirembe okuva mu bbugumu eringi erireetebwa embeera y‘obudde, okubeera ennyingi mu kifo ekimu n‘obuwuka obutawaanya enkoko bireetera okukendeera mu mbiika y‘amagi.