Enkoko zirimu ekirungo ekizimba omubiri era zifunisa abalimi ssente wabula ekirwadde kya sotoka kizitta noolwekyo zeetaaga endabirira ennungi n‘okugoberera enkola ezeetaagisa.
Kalimbwe w‘enkoko akozesebwa ng‘ekigimusa eky‘obutonde oluvannyuma lw‘okuvunda. Obukoko obuto bwagala okulya omusenyu n‘amanda ekisobozesa emmere okukubibwa obulungi mu lubuto. Ekisookera ddala zeewaze okwezaalamu kuba kino kijja kukuwa enkoko ennafu. Teeka obuti obwekiise wagguluko ku ttakaokusobozesa ebinyonyi okubuuka, okuwummula ekiro n‘okwanguyirwa okukungaanya kalimbwe.
Ebikolwa by‘endabirira
Ekisookera ddala zimba ebiyumba by‘enkoko okuzikuuma obutaliibwa busolo, ababbi n‘embeera y‘obudde embi. Longoosa ebiyumba buli kadde okukuuma enkoko nga nnamu era osaasaanye evvu wansi enkoko zinaabe n‘okukendeeza ku buwuka obuzinywa okugeza obuloolo n‘enkwa. Okwongerezaako, teekamu obukuta bw‘emiti oba omuddo omukalu mu kiyumba ebinyonyi bisobole okubiika amagi n‘okukendeeza ku kusaasaana kw‘obuwuka obuzinyuunyunta.
Okuziyiza obuwuka obunyuunyunta enkoko
Enkoko bw‘ebiika emirundi ebiri, fuuyira ebifo mwe zibiikira n‘eddagala eritta ebiwuka oba evvu eribuguma okuziyiza obuwuka obuzinyuunyunta. Bulijjo, kuumiranga obukoko obutono mu kiyumba mu wiiki ezisooka okukuuma enkoko obutaliibwa wamu n‘okubula. Okwongerezaako obukoko buwe ebbugumu mu nnaku ennyinyogovu buleme okufa. Ebinyonyi osobola n‘okubiwa ekintabuli ky‘ensaano, barley, kasooli n‘omuddo kubanga bya layisi. Bulijjo longoosanga ebikebe by‘amazzi mwe zinywera era oziwe amazzi amayonjo okwewala endwadde mu binyonyi. Sala era ogattemu eddagala ly‘ekinnansi okugeza ebikoola by‘ekigaji, kaamulali mu mazzi g‘okunywa okutumbula obusobozi bw‘enkoko okulwanyisa endwadde n‘okwewala namusuna mu nkoko. Mu kufundikira ziika enkoko ezifudde obulwadde okwewala okulwaza enkoko ennamu.