Okupakira kasooli mu bukutiya n’okumutereka bintu bya nkizo mu nkola y’okutereka kasooli era kitwaliramu okupima ebipimo ebituufu oba obuzito bwa kasooli obutuufu wamu n’okumusabika nga agenda kutundibwa.
Okwongerezaako, kasooli asobola okupakirwa mu bukutiya obulina obugazi obw’enjawulo. Kino kirina okukolebwa nga oyita mu kupima obulungi wamu n’okupakira obungi obutuufu obwa kasooli awatali kwongeramu kintu kirala kyonna okubba omuguzi.
Eby’okwegendereza mu kutereka kasooli
Bulijjo sooka oteeke mu bukutiya ebikerenda ebikuuma kasooli nga tonnaba kubutunga okusobola okukuuma kasooli okumala ebbanga eddene. Okwongereza ku ekyo, yonja bulungi ekifo mw’otereka nga okyeramu n’okukisiimuula, wamu n’okuziba ebituli okusobola okuzibikira buli mukutu ebitonde ebyonoona ebirime mwe biyinza okuyita. Era, saawa ensiko yonna okwetooloola ebyagi oba etterekero okuziyiza okusikiriza ebiwuka oba ebitonde ebyonoona ebirime era zibikira ebituli ebiri mu mabaati okuziyiza kasooli okukukula nga ali mu tterekero, anti kino kissa omutindo ekireetera okufiirizibwa okujjawo nga okukungula oba okunuula kasooli kuwedde.
Wabula weewale okukozesa obukutiya oba obuveera obulimu ebituli anti kasooli ayiika ku ttaka ayinza okusikiriza ebitonde ebyonoona ebirime. N’ekisembayo, ensawo zituuze ku bubaawo obutegekeddwa obulungi mu tterekero okuziyiza obukuku obutta omutindo gwa kasooli.