Kasooli alimwa nnyo nga wa kulya ng’emmere mu bitundu bingi okwetooloola ensi yonna era asobola okulimwa abalimi n’abasuubuzi nga wa kutunda. Wabula kikulu nnyo okubeera n’okumanya wamu n’ebikozesebwa nga byekuusa ku ddi? Na ngeri ki ey’okukungulamu obulungi oba okunuula kasooli.
Okwongereza ku ekyo, ku kasooli nga atuuse okunuula, olububi oluddugavu lweramba wakati w’empeke n’ekikongoliro ate n’empeke oziwulira nga zikaluba nga ozinyizeeko. Ku balimi abanuula amangu kasooli, kino kirina okukolebwa nga obubooya bufuuse bwa kitaka. Ate abo abalwawo nga tebannamunuula, balina kumunuula ekikolo kyonna kikalidde ddala.
Okulaba nga okukungula oba okunuula kukolebwa bulungi
Kasooli munuule nga enkuba eweddeyo asobole okukala obulungi, era oyogereko n’abalala abakulimirako ku kiseera ekituufu kasooli mw’anaatuukira okunuula, engeri gye kiri nti ebika bya kasooli eby’enjawulo bitwala obudde bwa njawulo okutuuka era olabe nga kasooli yenna atuukira kumu mu kiseera eky’okumunuula. Wabula, tolwawo kunuula kasooli okwewala okufiirizibwa nga ebitonde ebyonoona ebirime bimulumbye, ababbi oba oluyiira. Okwongerezaako, okunuula kulina kutandika kumakya ddala nga omusana mutonotono era saba abalala bakuyambeko okusobola okumala amangu omulimu ogwo.
Era, nuula kasooli nga omuva kumu okuva ku nsonda emu okudda ku ndala oleme kubuuka bikolo ebimu era oluvannyuma kungaanya kasooli mu ntuumu ez’enjawulo asobole okukwanguyira okumuggyawo. Ekisembayo, totuuma kasooli ku ttaka ejjereere okwewala okukosa ebikongoliro wamu n’empeke.