Okufiirizibwa okusinga mu kulima kawo kujjira mu kiseera nga okukungula kuwedde. Enkola enkyamu okugeza obutakaza bulungi nsigo, entereka embi, kikendeeza omutindo n‘obungi bwa kawo.
Kawo aliibwa aboomumaka, aleeta ensimbi wamu n‘emmere ezimba omubiri eri ebisolo. kawo, ebinyeebwa ne soya bisobola okukozeesebwa nga ekimera eky‘okukubuzaabuza ebitonde ebyonoona ebirime okutangira omuddo ogunyuunyuunta okugeza; kayongo era bigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
Okukaza ensigo
Bwe twogera ku kukaza ensigo, obutakala bulungi kikosa obusobozi bw‘ensigo okumera. Kaaliza kawo awedde okuwewa obulungi mu kasana okumala essaawa nnya mu nnaku ssatu era otereke mu kintu mw‘ayinza okuteekebwa wagguluko okuva ku ttaka.
Ekiwuka ekirya ensigo za kawo kibiika amagi ageekwata ku minyololo oba ensigo, gaalula ne gasima mu nsigo.
Entereka y‘ensigo
Nga ebiwuka ebirina ebyoya ebya kifudu bwe biri ebiwuka ebisinga okukosa ensigo za kawo, waliwo obwetaavu okukendeeza okwonoonebwa kw‘ensigo nga oziyiza ebyana ebyaludde okuyingira mu tterekero.
Nga otereka, laba nga empewo teyingira era laba nga tobikkula kintu mw‘omutadde okuziyiza okwalula kw‘amagi. Tabula ensigo n‘omusenyu oguleetebwa mukoka n‘evvu okuggyamu empewo yonna mu nsigo nga tezinnaterekebwa. Kino kitta ebiwuka nga tebiwaka. N‘ekisembayo, kozesa ebimera ebikaze kyokka nga biwunya nnyo okutta oba okugoba ebiwuka mu kutereka.