Kulwentereka empaanvu namakungula ga kasooli amalungi, kyamugaso okumanya butya bwoterekamu kasooli obulungi. Kakasa nti sitoowa yo teyingiza mpewo, kino tekisobozesa buwuka bwonoona kasooli kuba na wakwekukuma.
Ebyagi eby‘obudongo
Ebyagi ebyobudongo biyina okuzimbibwa ku musingi ogwamayinja okwewala enkuyege okulya kasooli, okwewala obuuka obutono obwonona kasooli. Birina obubaati kumpagi zebyagi era birina ebisanikira bibiriga‘ekimu kikoleddwa mu bumba ate ekirala kikoleddw mu nsekeseke. Ebisanikira bino bitaasa amakungula okuva eri obuwuka obwonoona kasooli.
Kyamugaso okulongosa ebyagi no‘kubikuma nga bikalu. Osobola nokwokya ensekeseke ebweru okubitangira eri obuwuka. Wewale okumenyeka oba ennyafa kubisenge, kubisanikira oba kuttaka. Bwosanga awatise, terezawo mubunambiro. Buli kimu kirina okubeera mumbeera ennungi, bwoba oyagala obuwangaazi, osobola okwongeramu ebikoola bye niimu.
Togattanga kasooli omukadde no mupya awamu, embalazandiba ez‘enjawulo era e‘mukuzoyandirumbibwa.
Engeri endala gy‘osobola okuterekamu
Kumpi ne‘byagi eny‘obudongo osobola okutereka amakungula mu byagi eby‘ebyuma, eppipa oba ebisawo. Bwokozesa ebisawo, weyambise ebyo ebiyitibwa plc ebirina emibiri esatu mugumu, obuveera bwa plastika munda bubiri n‘akatunge kungulu. Bwoba tolina ekimu kubino ebiterekerwamu, osobola okweyambisa akakutiya akabulijjo. Era yongeramu ebirungo ebyetangira kuba akakutiya kabulijjo tekalina busobozi buziyiza mpewo kuyitamu.
Byona bwoba weyambisiza okuterekamu, kakasa nti tebikoona ku bisenge oba kuttaka nga bituziddwa kukitandaalo kyebibaawo.