Kasooli akozesebwa mu bintu bingi era asobola okulimwa mu bitundu eby‘enjawulo. Buli kitundu ku kasooli kirina omugaso n‘omuwendo mu by‘enfuna.
Kasooli akulira ku bika by‘ettaka eby‘enjawulo naye amakungula amangi gafunibwa ku ttaka eggimu eritaliimu mayinja, eriyitamu obulungi empewo, erijjudde ebintu by‘obutonde. Weewale okusimba kasooli mu ttaka eririmu amazzi amangi, ebiffo omuli emiti, ebifo omuli ebisiikirize, ku nkalajje, ettaka ery‘ettosi, n‘ery‘ebbumba.
Endabirira y‘ettaka mu kulima kasooli
Bulijjo gezesa ettaka nga tonnaba kusimba. Funa ssampulo mu buwanvu bwa ssentimmita abiri era otwale ssampulo eyo mu kifo we bakolera okunoonyereza ku by‘obulimi yeekenneenyezebwe. Ettaka ly‘okulimirako kasooli lisobola okuteekebwateekebwa nga okozesa emikono oba ttulakita nga osinziira ku bibade ku ttaka eryo. Mu mbeera nga ettaka liserengeta, okulima kulina kukolebwa bukiika so si ku kaserengeto okuziyiza ettaka okukulukusibwa. Ensigo ez‘okusimba zirina okubeera nga zaakakasibwa era nga ziguliddwa mu abo abatunda ebikozesebwa mu nnimiro era okugezesa obusobozi bw‘ensigo okumera kukolebwa nga ensigo tezinnaba kusimbibwa. Okusiga kuyinza okukolebwa nga okozesa emikono oba ttulakita nga ebiseera by‘enkuba bitandika oba mu biseera enkuba mw‘esuubirwa naddala ku bika bya kasooli ebigumira ekyeya. Mu kusiga, teekamu ebigimusa ebisooka wansi mu buwanvu bwa ssentimmita nga kkumi, olwo bikka n‘ettaka osigaze ekinnya kya ssentimmita ttaano ensigo mw‘egenda okusigibwa.
teekamu ggulaamu bibiri mu ataano ez‘ekirungo kya NPK mu nnaku kkumi ku kkumi n‘ennya okuva ensigo lwe zaasigibwa era ofuuyire kkiro kikumi abiri mu ttaano eza ammonium sulphate oba kkiro nsanvu mu ttaano eza urea mu buli bugazi bwa hectare.
Okutangira omuddo
Okutangira omuddo kulina okukolebwa mu amangu nga bwe kisoboka. Kino kisobola okukolebwa nga okyusakyusa ebirime by‘olima ku ttaka lyerimu, okuwa ebirime amabanga agawera okusinziira ku kika, okugera ekiseera mw‘osigira, okukoozesa enkumbi n‘emikono, okuteekamu ebigimusa n‘okukozesa ensigo ennungi ezitaliimunsigo za muddo. Eddagala nalyo liyinza okukozesebwa okutangira omuddo.
Mu kukula, okuziyiza endwadde z‘ekimera kwa mugaso. Mu bwangu ddala ggyamu kasooli alimu obubonero bw‘obulwadde, okugeza okwengererera kw‘ebikoola, okuvunda kw‘ekikolo n‘endu.
Kasooli akungulwa na mikono bw‘atuuka ku bukulu obulabwako oba nga bakozesa ebyuma obungi bw‘oluzzizzi bwe bukendeera okubeera wakati w‘ekipimo kya kkumi na munaana ku makumi abiri mu nnya ku buli kikumi olwo era n‘akazibwa okubeera wansi w‘ekipimo kya kkumi na nnya ku buli kikumi okumutuusa gy‘ayagalwa oba okuterekebwa.
Kasooli omugimu obulungi akuwa ekiwera azitowa ggulaamu ebikumi bisatu era abeera n‘obusongezo obujjuziddwa obulungi. Ebikongoliro ebinene ebizitowa ggulaamu ebikumi bitaano biraga nti kasooli yasimbwa mutono mu nnimiro n‘ebikongoliro ebitono ne biraga nti obugimu butono mu ttaka.