»Entabula erongooseddwamu ey‘eddagala erigema, Enkwata N‘enkuba y‘eddagala eryo- Ente z‘amata«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=6Eoh0XmkXfM

Ebbanga: 

00:06:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Boehringer Ingelheim Cattle Health
»«

Obulamu bw‘ensolo busigala nga kintu kya mugaso ekisinziirwako omutindo n‘obungi bw‘ebyo by‘ofuna mu bifunibwa mu nsolo.

Nga okukola obulungi okw‘eddagala erigema bwe kusinziira ku busobozi bw‘ensolo okubaako ky‘ekyuukako olw‘eddagala, entabula entuufu, enkwata n‘enkuba y‘eddagala. kya mugaso okwebuuza ku musawo w‘ebisolo okuziyiza endwadde ezikwata ente.

Enkwata y‘eddagala erigema

Ekisooka, toteeka ddagala mu musana, mu bbugumu, mu bunnyogovu obuyitiridde oba mu butiti era litereke okusinziirra ku ndagiriro eriwandiikiddwako. Bw‘obeera w‘okunira ente eddagala, teeka empiso mu kifo ekiweweevu era weewale okulikuba ente nga mbissi, oba nga ebbugumu lisukkiridde.

Mu ngeri yeemu, tabulira wamu eddagala eriri mu bucupa obubiri obusangiddwa mu kibookisi okuzuukusa ekirungo ekyongera amaanyi mu basirikale b‘omubiri era mu mbeera eyo, kozesa empiso gy‘otabuza eddagala eteriiko buwuka okwewala obujama okuva ku ddagala eddala erigema. Teeka empiso gy‘otabuza eddagala mu kacupa aka ppulaasitiika nga ogiyisa mu kasaanikira aka labba, wunzika akacupa ka ppulaasitiika oteeke emabega w‘empiso etabula eddagala mu kasaanikira aka labba ak‘akacupa aka ggiraasi. Empewo mu kacupa ak‘eggiraasi ejja kuyiwa eddagala eriri mu kacupa aka ppulaasitiika.

Nga omaze okukyusa, ggyamu empiso gy‘okyusisa eddagala okuva mu kacupa aka ppulasitiika era onyeenye akacupa mpolampola okutuusa eddagala bwe lyetabula. Tonyeenyesa maanyi mangi anti kino kikosa ebiri mu ddagala erigema era okuziyiza kino, laba akabookisi mwe lijjira akalina ebikwata ku kigero n‘engeri y‘okukubamu eddagala.

Okwongereza ku kutandika, kozesa omukono gumu okuwunzikira oludda akacupa ak‘eggiraasi, kwatira empiso mu mukono omulala okufumita empiso mu makkati g‘akasaanikira aka labba mu kacupa k‘eddagala eritabuddwa okusikamu ekigero ky‘oyagadde era nga omaze okulisikamu, ggyamu empiso mu kacupa era osindike eddagala erimu nga empiso etunudde waggulu okuggyamu empewo ey‘obulabe eri ensolo ereetera okukuba ensolo ekigero ekitali kituufu. Siba bulungi ensolo era nga okuba empiso ey‘okukuba wansi w‘eddiba, laba w‘ogenda okugikuba awalina okuba awayonjo era ewatali bukyafu bwonna era okozese empiso empya. Teeka akasiikirize ku nsingo y‘ensolo, teeka empiso awali akasiikirize obuteekiika mu kinywa, kuba eddagala, ggyamu empiso, ta eddiba ly‘ensolo era olambe ensolo egemeddwa.

N‘ekisembayo, oluvannyuma lw‘okugema, longoosa empiso nga okozesa amazzi ageesera era tokozesa ddgala eritta obuwuka. Okukola obulungi, eddagala lyonna eddongooseemu erigema lirina okukozesebwa mu ssaawa emu okuva lw‘olitabudde era nga omaze, suula empiso okusinziira ku ndagiriro.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:16Okukola obulungi okw‘eddagala erigema obuwuka kusinziira ku busobozi bw‘ensolo okukyukako olw‘eddagala.
00:1700:56Era kisinziira ne ku ntabula, enkwata n‘enkuba y‘eddagala.
00:5701:21Toteeka ddagala mu musana, mu bbugumu, obunnyogovu obuyitiridde okusinziira ku ndagiriro.
01:2201:26Weewale okukuba ente eddagala nga mbissi oba nga ebbugumu lisukkiride.
01:2701:53Tabula eccupa ebbiri ez‘amazzi n‘eddagala ezisangidda mu kibookisi nga okozesa empiso eteriiko buwuka ekozesebwa okutabula eddagala.
01:5402:08Okusooka, fumia empiso mu kacupa aka ppulasitiika, kawunzike era ofumite emabega w‘empiso mu kacupa ak‘eggiraasi.
02:0902:44Nga omaze okutabula eddagala, ggyamu empiso mu kasupa aka ppulasitiika era mpolampola onyeenye akacupa ak‘eggiraasi.
02:4503:05Laba ekibookisi okuli ebikwata ku kigero ky‘eddagala n‘engeri gy‘okubamu eddagala eryo.
03:0603:10Okutandika, kozesa omukono gumu okuwunzikira oludda akacupa k‘eggiraasi.
03:1103:18Kwatira empiso mu mukono omulala era ofumite empiso mu ddagala eritabuddwa.
03:1903:49Sika ekigero ky‘eddagala kye weetaaga okuva mu kacupa, oluvannyuma ggyamu empiso era oggye empewo mu mpiso.
03:5004:11Nga tonnakuba ddagala, siba bulungi ente.
04:1204:34Mu mpiso ezi‘okukuba wansi w‘olususu, funa empiso empya eteriiko buwuka era olabe awayonjo w‘onookuba.
04:3504:48Kola akasiikirize mu bulago bw‘ensolo oteeke empiso mu kasiikirize ako.
04:4905:04Kuba eddgala, mpolampola ggyamu empiso, ta eddiba ly‘ensolo era olambe ensolo egemeddwa.
05:0505:32Longoosa empiso nga okozesa amazzi ageesera oluvannyuma lw‘okugema nga temuli ddagala litta buwuka.
05:3305:39Kozesa eddagala erigema erirongooseddwamu mu ssaawa emu nga lyakatabulwa okusobola okukola obulungi.
05:4005:45Eddagala erigema lirina okuterekebwa awaweweevu awatali musana na bbugumu lisukkiridde.
05:4605:50Suula empiso okusinziira ku ndagiriro.
05:5106:14Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *